EMPEEREZI
Zino z’ennukuta eziyamba okuwa ekigambo eddobozi era wezitali tekisoboka kwatulwa y’ensonga lwaki ziyitibwa njatuza era ze zino.
A E I O U
Amateeka agafuga empeerezi
- Empeerezi ebbiri tezitandika kigambo okugeza,
Ekifu Ekituufu
Oomuwaala Omuwala
Eebibbo Ebibbo
Aabaana abaana
- Empeerezi ebbiri tezisemba ku kigambo okugeza
Ekifu Ekituufu
Akaloo Akalo
Ekitii Ekiti
- Empeerezi ezitafaanagana tezeriraana
Okugeza;
Ekifu Ekituufu
Nakaiza Nakayiza
Abaizi Abayizi
Omuana Omwana
Wetegereze: Kunnukuta zino bweziba zaagala okweriraana mu kifo we kyeyolekera tuteekawo nampawengwa (Y oba W).
- Empeerezi I ne U tezitandika kigambo muluganda
Okugeza
Ekifu Ekituufu
Ingira Yingira
Uwummula Wummula
- Empeerezi a, o, e z’ezitandika ebigambo muluganda okugeza; akambe, omugoyo, entamu.
- Empeerezi ebbiri ezifaanagana zisobola okuwandikibwa awamu naddala eddoboozi singa liba liwangaala. Okugeza; omupiira, ekikeeto, okuloota, nebirala.
