OLUGERO LWA NSANGI NSANGI

Olugero lwa nsangi.

Awo'olwatuuka nga wabeerawo omwana omuwala gwe bayitanga Nsangi. Nsangi yabeeranga n'enyina naye lwali lumu enjala neggwa kukyalo kwebabeeranga era maama wa Nsangi amagezi geyasala gali nga kuleeka muwala we mu nju asobole okunonya eky'okulya. Sikulwiseeyo maama wa Nsangi yamugamba nti bwowulira ng'anyimba akayimba mu ndoboozi ettono nga omanya nti nze ali Ku mulyango awo no nga ogulaawo . Ate bwelibeera nga ddene nga omanya nti ekyo kiba kiziike era togulawo . olwali olwo nga maama wa Nsangi akookona Ku luJJi nga bwayimba nti Nsangi Nsangi Nsangi

                        Mwana wange bwolimeera

                        Embeere nze ndigenda

                        Nawe Nsangi gulawo

                       Nsuleyo akalo ko........ Awo nga Nsangi agulawo nga maama we amusulirayo akaalo. Lwali lumu nga ekiziike nga kijja n'ekiyimba mu kiloboozi ekinene. Nsangi teyagulawo. Ekiziike nekisala amagezi gakugenda Ku mu lubaale akikyuuse edoboozi kisobole okulya Nsangi . Era olunaku lwatuuka ekiziike n'ekijja era n'ekiyimba mu ndoboozi ettono era Nsangi nagulawo ekiziike ne kimulya . maama we yagenda okudda nayimba nga Teri kanyego. Nange awo wenalabira

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Scroll to Top