OKUFUNZA
Kuno kwekuddamu okuwandiika ekibeera mu bigambo ebingi olwo nekidda mu bigambo ebitono ddala naye nga amakulu n’obubaka tebikyusiddwa.
EBIKULU EBIGOBERERWA
- Soma endagiriro era ogigoberere bulungi.
- Soma ekitundu okitegeere bulungi.
- Ekitundu ddamu okisome omulundi omulala.
- Wandiika ekiwandiiko ekisooka nga okozesa ensonga zojje mu buli kiba (paragraph).
- Soma mu kiwandiiko ekisooka okigerageranye n’ekyakuwereddwa.
- Wandiika ekiwandiiko ekyokubiri.
- Ekiwandiiko ekisooka tokisazaamu nga tonamaliriza kyakubiri.
- Fuba okugondera omuwendo gwebigambo ebisabiddwa.
- Ebigambo ebyogere obuterevu biteeke mu kyewaabya.
- Laga bulungi ennamba yebibuuzo gyoddamu.
- Kozesa bibiri byakusatu ebyolupapula mu kiba kimu.
Wewale bino
- Okukyusa ekiseera kyekiwandiiko.
- Okuddiηana ebigambo.
- Okukozesa ebisoko n’engero.
- Okusaako omutwe nga tebagukusabye.
- Okukoppolola obukoppolozi.
