OKUWANDIIKA EBITEESO
Byetugoberera
- Omutwe muno mubeeramu
- Ekika ky’olukiiko ennaku z’omwezi kwelwatuulira, ekifo n’essaawa kwe lwatulira.
- Laga abantu abaaliwo mulukiiko, abataaliwo ngabaawa okwetonda n’abo abataaliwo naye ng’atebaawa nsonga.
- Ebyokutesaako “Agenda” (ebiteeso)
- Ebiteeso ebiteeseddwako mubujjuvu era n’okulaga ennamba yaabyo okugeza EKIT 001.
- Kunkomerero olekawo omuwandiisi ne ssentebe webateeka omukono.
- Ebiteeso biwandiikibwa mu kiseera ekyayita.
Ekyokulabirako
OLUKIIKO LWABAKULEMBEZE BA BAYIZI MU ST. JULIANA HIGH SCHOOL OLWATUULA NGA 15/3/2018 MU KIZIMBE KY’ESSOMERO EKINENE (MAINHALL) KU SSAAWA MUKAAGA.
Abaaliwo
- Lukenge Fred (Ssentebe)
- Kityo Nathan (mukiise)
- Mugenyi Abdul (mukiise)
- Kagodo Micheal (mukiise)
- Nalumu Ritah (Muwandiisi)
Abataaliwo nga baawa ensonga
- Ssendi Steven
- Mbwatekamwa Hope
Abataaliwo nga tebaawa nsonga.
- Emiriano Kayima
- Idi Ssenkumba
Ebiteeso
- Essaala eggulawo.
- Okusoma ebiteeso ebyayita.
- Okwogera kwa ssentebe.
- Okukubaganya ebirowozo.
- Ebivaamu.
- Essaala eggalawo.
EKIT 001: Essaala eggulawo
Olukiiko lwaggulwawo n’essaala eyakulemberwamu Kityo Nathan ku ssaawa mukaaga ezomuttuntu zennyini.
EKIT 002: Okusoma ebyateesebwa
Eybateesebwa ku mulundi ogwayita byasomebwa era ne bitereezebwa
EKIT 003: Okwogera kwa Ssentebe
Ssentebe yatandiika n’okulamusa kubakiise era natwebaza okujja mu lukiiko. Ssentebbe yayogera ku nsonga zino wammanga:
- Yayogera ku bayizi abatayagala kwambala yunifoomu.
- Yayogera kubuyonjo bwessomero era yategezezza nti abayizi baali tebakyajjumbira kulongoosa mu bisulo byabwe.
- Yayogera ku bayizi abaali bagunjizaawo omuze ogw’okunywa enjaga n’okkwesiwa amagengere buli kiro.
Ekit 004: Okubagannya Ebirowoozo.
- Omukiise Mugenyi Abdul yateesa nti abayizi bonna basaanye okwambala nga yunifoomu era kifuuke kyabuwaze.
- Kagoda yateesa nti bwekiba kisoboka abayizi nga tebanajja ku ssomero kumakya balina okulongoosa gyebasula.
- Ate ye Nalumu yateesa nti abayizi abanywa enjaga beetaaga kugobwa ku ssomero,
Ekit 005: Ebyavaamu
- Olukiiko lwasalawo nti abayizi bonna baali balina okwambalanga yinifoomu zaabwe era nga kyakufuulibwa kyabuwaze buli muyizi okugyambalanga buli lunaku. Abakulembeze baakubirizibwa okufuba okulaba nga bayizi bannaabwe balongoosa nga ebisulo gye basla buli ku makya.
Ekit 006: Essaala eggalawo
- Olukiiko lwaggalawo n’essaala eyaweebwa Kityo Nathan era yayagaliza abakiise emikisa gyakatonda. Olukiiko lwaggalawo ku ssaawa musanvu zennyini.
……………………. ……………………….. ………………………
Omuwandiisi Ennaku z’omwezi Ssentebe
OKUFUNZA
Kuno kwekuddamu okuwandiika ekibeera mu bigambo ebingi olwo nekidda mu bigambo ebitono ddala naye nga amakulu n’obubaka tebikyusiddwa.
EBIKULU EBIGOBERERWA
- Soma endagiriro era ogigoberere bulungi.
- Soma ekitundu okitegeere bulungi.
- Ekitundu ddamu okisome omulundi omulala.
- Wandiika ekiwandiiko ekisooka nga okozesa ensonga zojje mu buli kiba (paragraph).
- Soma mu kiwandiiko ekisooka okigerageranye n’ekyakuwereddwa.
- Wandiika ekiwandiiko ekyokubiri.
- Ekiwandiiko ekisooka tokisazaamu nga tonamaliriza kyakubiri.
- Fuba okugondera omuwendo gwebigambo ebisabiddwa.
- Ebigambo ebyogere obuterevu biteeke mu kyewaabya.
- Laga bulungi ennamba yebibuuzo gyoddamu.
- Kozesa bibiri byakusatu ebyolupapula mu kiba kimu.
Wewale bino
- Okukyusa ekiseera kyekiwandiiko.
- Okuddiηana ebigambo.
- Okukozesa ebisoko n’engero.
- Okusaako omutwe nga tebagukusabye.
Okukoppolola obukoppolozi.
