EMBEERA MU LUGANDA (MOODS)
Embeera kitegeeza engeri gyetuba twewuliramu.
Bulijjo emboozi zetwogera zisinziira kumbeera gyetulimu
Ebika by’embeera z’ebikolwa
- Embeera y’ekikolwa etaliiko kkomo
Eno y’embeera eragibwa n’ekikolwa ekiriko ennyingo ku oba oku era nga kiraga embeera eriwo ate nga terigwawo okugeza;
- Okulima Kuvaamu ensimbi
- Abaana okusoma kirungi
- Okulya kintu kikulu nnyo
- Embeera y’ekikolwa ey’akakwakkulizo
Eno yembeera eraga ebintu ebibiri ng’ekimu okubaawo waliwo ekiba kirina okusooka okukolebwa olwo nekirala nekibaawo. Okugeza;
- Bandiyombye singa babawadde amenvu
- Maama taba kujja sandize
- Mba kufirwa mwana, ssaalize wano
- Embeera y’ekikolwa eyagaliza
Eno y’embeera y’ekikolwa ebaawo singa tuba twagaliza bannaffe ekintu ekirungi oba ekibi okugeza;
- Bambi katonda abakulembere!
- Mumuleke bamukube addemu empisa!
- Muwanga abakulembere!
- Embeera eragira
Eno y’embeera ekozesebwa kukikolwa ng’omwogezi alina gwalagira okubaako kyakola. Okugeza
- Koza mpola tumalirize
- Tambula onviire
- Gamire mangu
EMPEEKERA
Bino byebigambo ebiri awamu ebisukka mukimu nga binyonnyola erinnya oba ekikolwa ekiba mu sentensi
Ebika bye mpeekera
- Empeekera nakongeza linnya
- Empeekera nakongeza kikolwa
Empeekera nakongeza linnya
Bino byebigambo ebiri awamu ebyongera okunnyonnyola erinya eriba mu sentensi okugeza;
- Abayizi abalidde emmere babakubye
- Abalenzi abatalina mpisa tebasobola kuwasa
Wetegereze:
- Ebigambo ebisazidwako mu sentensi byebikoze ngempeekera nnakongeza linnya.
- Bwoba osaza kumpeekera nakongeza linnya otandikira kukigambo ekiriraanye erinnya okutuka kuntandikwa yekikolwa ekyokubiri.
- Enjawulo wakati wa nakongeza linnya kiba kigambo kimu ekinnyonnyola ekikolwa ekiba mumboozi era byawulwamu ebiti bitano nga byebino.
- Empeekera nakongeza kikolwa eyempisa
Eno eba eraga engeri ekikolwa gye kikolebwa era eba eddamu ekibuuzo tya? (how?) okugeza;
- Nakirya atambula yenna nga yeerinyako era bane bamusekerera nnyo
- Twamusanze atunula bigigidde ng’embuzi ekaabira amalagala ne twewunnya kyeyabadde.
- Empeekera nakongeza kikolwa ey’ensonga
Eno eba enyonnyola ensonge eziviirako ekikolwa ekikulu ekiri musentensi okukolebwa era eddamu ekibuuzo (lwaki?) why? Okugeza;
Babirye yanyiize lwakuba twamugyeko ebintu bye
Omusomesa waffe teyaze kussomero kubanga twaganyi okukola omulimu gweyatulekera.
- Empeekera nakongeza kikolwa eyekiseera
Eno ekozesebwa okunyonnyola obudde ekikolwa ekikulu lwekyakoleddwa oba lwe kikolebwa era eddamu ekibuuzo (ddi?) when okugeza;
- Lugemwa atuuse tunaatera okugenda okwebaka era teyasanze kyaggulo.
- Twava kumbaga nga bamaze okugabula era bwetutyo netudda eka
- Empeekera nakongeza kikolwa ey’ekifo
Eno ekozesebwa okunnyonnyola ekifo ekikolwa mwekikolebwa, mwekyakolebwa oba mwekikolebwa era eba eddamu ekibuuzo (wa?) (where?) okugeza
- Embuzi zirumye gyezisula era omuddo gwonna guweddewo
- Amenvu gateeke waggulu kukibanyi gasobole okwengera.
- Empeekera nakongeza kikolwa eyakakwakulizo
Eno eba enyonnyola nti waliwo ekirina okusooka okutuukirizibwa ekikolwa kiryoke kikolebwe era tokozesa obugambo nga singa ne bwe okugeza;
- Njakuddayo ewaka bwe naaba maliriza ebibuuzo
- Omulenzi oyo ajja kusibwa singa tava kumuwala wange