OBUWAKATIRWA (VERB EXTENSIONS)
Buno bwe bugambo obuyungibwa ku kikolwa okwengera okuwa amakula agenjawulo era buli mwenda nga bwebuno.
- Akalazi (ira ne era)
Kano kakozesebwa okulaga
- Ekifo ekikolwa mwekikolebwa okugeza;
- Omuyizi asomera Wakiso
- Omwana azannyira mukibiira
- Ensonga lwaki ekikolwa kikolebwa
- Ssendawula omupiira aguzanyira nsimbi
- Kato ayombera sente ze.
- Singa omuntu akola ekikola oba alina gwayamba okugeza;
- Ntemera omuti ogwo
- Mpandiikira ebbaluwa eyo
- Akakizi akadiŋŋana (irira, erera)
Kakozesebwa okulaga:
- Ekikolwa ekikolebwa olunnye okugeza
- Ontamye okulinyirira nnyo buli kiseera
- Ensonga lwaki ekikolwa kikolebwa
- Nalubwama asomerera busomesa
- Mugabe yalwanirira emirembe
- Akanaluzaala
Kalagibwa ne –esa, isa, iza, eza
- Keyamabisibwa okulaga ekintu kyebakozesa okukola ekikolwa okugeza;
- Atemesa mbazzi
- Yeetikisa nkata
- Keyambisibwa okulaga omuntu aviirako ekikolwa okukolebwa okugeza;
- Lubanga atemesa nnyama
- Legemwa okubiza banne
- Akasoboka
Kano kalagibwa –ika, -eka, ezeka, izika
Kano kaba kalaga nti ekikolwa kisoboka okukolebwa okugeza;
- Amumapaapaali gutemeka
- Entunuka ewonyezeka
- Ebijanjaalo bikubika
- Kyesirikidde
Kalagibwa -ibwa, -ebwa, -idwa, -edwa, iddwa, -eddwa
Kano kakozesebwa okulaga omuntu akoleddwako ekikolwa oba ekintu ekirala ekikoleddwa ekikolwa. Okugeza;
- Omubbi okubiddwa mizibu
- Tukwanibwa buli lunaku
- Akaddanyuma/akajjuluzi
Kalagibwa ne utula, -ukuka, -ula
Kano kakozesebwa nga tulaga nti ekikolwa kyeteega okuva mu mbeera gye kirimu n’ekizimbwa mu eyo gye kyasooka okubeeramu okugeza;
- Wanika Wanula
- Yambala Yambula
- Samba Simbula
- Akaddiŋŋana
Tekalina kayingo kakalaga
Kano kalaga okuddiŋŋana ekukolwa kyoka nga ekikolwa kikolebwa mungeri eyokusaagasaaga okugeza;
Limaalima, yimbayimba, temaatema
- Akakolaganyi
Kano kalagibwa ne gana, ŋŋana
Kano kakozesebwa okulaga nti abantu abakola ekikolwa buli omu akikola ku munne. Okugeza
- Tujja kukubagana
- Ebinene nebinene bityaŋŋana
- Abawala balwanagana
- Akeekolako
Kano kalagibwa ne –ee) akabonero ako kawandiikibwa wakati wa nakasigirwa enkozi olwo ne kuddako ekikolwa okugeza;
- Yeesaze olugalo ng’awaata
- Beekonye emitwe nga basamba omupiira
- Abadde atambula ne yeesuula
Waliwo obuwakatirwa obuteekebwa kuntandikwa yerinnya
