EBISEERA MU LUGANDA (TENSES)
Mululimi oluganda tulinamu ebiseera byamirundi mukaaga nga bino byebiraga akadde ebikolwa eby’enjawulo ebikolebwa muno mwemuli
Ekyayita Ekyayise
Ekiyise Ekiriwo
Ekijja/ekinajja Ekirijja
Ekiseera ekyayita (Past tense)
Ekiseera kino kikozesebwa singa ekikolwa ekyogerwako kyaggwa dda. Obubonero obulaga ekiseera kino ka-a ebeera wakati wa nakasigirwa ezoobuntu enkozi n’ekikolo kyekikolwa okugeza;
- Baayimba bulungi
- Baalya enva endiirwa
- Twaalima olubimbi olunnene nelutulema okumalawo.
Ekiseera kino kisobola nokulagibwa n’ekikolwa ekiyambi ekya Li okugeza;
- Baali balya enkuba n’ejja
- Baali batudde ne basumagira
Ekiseera ekyayise (past participle)
Ekiseera kino kikozesebwa singa ekiseera ekyogerwako kuba kyaweddwa wakati w’essaawa 12 ezaayise. Kiragibwa nakabonero Ka-a wakati wa nakasigirwa enkozi n’ekikolo kyekikolwa wamu n’enkyukakyuka kunkomerero yekikolwa okugeza;
- Baalimye nnyo
- Twabuuzizza abagenyi
- Yalidde emmere empoomu
Ekiseera kino kisobola okulagibwa n’ekikolwa ekiyambi badde okugeza baabadde bayimba, baabadde balya.
Ekiseera ekiyise/ekyakayita (past perfect)
Kino kikozesa bwetuba twogera kukikolwa ekibaddewo nga tekisussa ssaawa 6 nga kiwedde. Kino tukirabira ku nkyukakyuka ebeera kunkomerero yekikolo okugeza.
Bayimbye bulungi
Bagenze
Babakubye
Tusobola okukozesa ekikolwa ekiyambi –badde. Okugeza
Babadde balima, tubadde tulya, mubadde musoma
Ekiseera ekiriwo (present tense)
Kino kikozesebwa singa ekikolwa ekyogerwako kubanga kikolebwa ku ssaawa eyo omwogererwa era tekirina kabonero kakiraga okugeza;
- Tuwuliriza mawulire
- Mulya mmere
Ekiseera ekijja/ekinajja
Kino kikozesebwa singa ekikolwa ekyogerwako kiba kyakukolebwa mussaawa 6-24. Kiragibwa n’akanonero –naa- akabeera wakati wa nakasigirwa enkozi nekikolo kyekikolwa okugeza;
Tunaalya, tunaayimba, banaamulaba
Oluusi ekiseera kino kiragibwa n’ekikolwa ekiyambi ekya jja okugeza:
- Bajja kuyimba enkya
- Ojja kumugamba ayitireko wano.
- Mujja kutuviira kuntembe yaffe
Ekiseera ekirijja
Kino kyeyambisibwa singa ekikolwa ekyogerwako kiba kikolebwa essawa 24 n’okweyongerayo. Kiragibwa nakabonero aka –li akabeera wakati wa nakasigirwa ezoobuntu enkozi nekikola kyekikolwa okugeza; Tulisamba, Balimulaba, muliyimba.
Ekiseera ekyabulijjo
Kino kikozesebwa ku kikolwa ekikolebwa buli lunaku
- Tulya ebikajjo
- Tusaba nnyo kumakya
Twebaka ng’obudde busibye
