SSENFO/NAKALAZI (PREPOSITION)

SSENFO/NAKALAZI (PREPOSITION)

Buno bwebugambo obweyambisibwa okulaga ekifo.

Obugambo buno buli buna era bwe buno mu, ku, e, wa

Ebyokulabirako

  • Essowaani eri ku mmeeza
  • Genda okebere mu nsawo
  • Kawooya agenze e Kampala okulambula
  • Omwana yekwese wansi wa kitanda

Wetegereze: Obugambo buno buwandiikibwa bwokka mubbanga.

Busobola okugattibwa kunkomerero yekikolwa olwo nebufuuka enzirugaze

Ku      -        Ko

Mu      -        Mu

E        -        yo

Wa     -        yo

Ebyokulabirako

  • Gendayo omumpitire
  • Tombamirako otyo
  • Tuulawo tovaawo

ENTABA BIGAMBO

Buno bwebugambo obweyambisibwa okugatta sentensi emu kundala okufuna emu. Okugeza singa, oba, ne nga, mpozi, sinakindi, wadde, era, ate, kyokka, naye, n’ewankubadde.

Ebyokulabirako

  • Bamutumye kubanga mugezi
  • Namayanja ne nakyagaba baayombye
  • Omusomesa yakubye omwana nga mulwadde

OBWEWUUNYI (INTERJECTIONS)

Bino byebigambo ebiba biraga okwewunnya, okwennyamira, awamu n’okusaasira okugeza bambi!, nga olabye!, woo!, kyokka nnyabo!.

Ebyokulabirako

  • Nga mulabye okubbibwa!
  • Nga kitalo nnyo!
  • Bambi asanze amaze okufa!

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Scroll to Top