LUGANDA NOTES ON EBIKOLWA NE Nnakongezakikolwa

EBIKOLWA

Kino kye kigambo ekiraga omukozi (subject) kyakola okugeza; okuwandiika, okuzimba, okulima, okulya.

Ebika byebikolwa.

  1. Ebyemala

Bino byebikolwa ebisobola okwetengerera byokka ate ne biwa amakulu ne bwebitabeera mu sentensi. Ebikolwa bino tubyawulamu emirundi ebiri era nga bye bino.

  1. Ebyetaaga erinnya erikolebwako

Bino biba byetaga erinnya erikolebwako okusobola okuggyayo amakulu n’okumalawo okubuusabuusa. Okugeza

  • Okuvuga (emmotoka, eggaali, ekipiira)
  • Okukuba (emisota, engalo, ebijanjaalo)
  • Okulunda (enkoko, ente, enjuki)

Ebyakulabirako

  • Maama musanze atema nku
  • Akalenzi kaali kalunda nte
  • Nabuuma tumulese alya mucungwa
  • Ebitetaaga linnya likolebwako

Bino biba biwa amakulu ne bwetuba tetutadeeko kikolebwako okugeza; okuseka, okutunula, okwebaka, okufa, okukaaba ne birala.

Ebyokulabirako

  • Omuwala tumasanze atunula
  • Lekeraawo okwebakira mukibiina
  • Omusomesa asumagira naye tumulabye
  • Ebiteemala

Bino bikolawa ebikolwa ebiyambi era nga bibeera biyamba kukikolwa ekikulu ekiri musentensi okugeza tera, gira, va, jja, bade, mala, sooka, lyoka, li.

Ebyokulabirako

  • Musooke musome olwo mulyoke mufune emirimu
  • Abayizi bava kukola kigezo
  • Bajja kukuvuma singa abanyiiza
  • Temutweralikirira tunaatera okubaviira ewammwe

Nnakongezakikolwa (adverb)

Kino kyekigambo ekyongera amakulu kukikolwa era kiba kyongera okulaga engeri ekikolwa gyekikolebwamu.

Ebika bya Nnakongeza kikolwa

  1. Nnakongeza kikolwa ezebiseera (adverb of time)

Zino ziba ziraga ekiseera ekikolwa lwe kyakolebwa era kiba kiddamu ekibuuzo ddi? Okugeza, ttuntu, jjo, luli, nkya.

Ebyokulabirako

  • Twatuuse kawungeezi
  • Oluganda tulusama mukalasamayanzi
  1. Nnakongeza kikolwa azeebifo (adverbs of place)

Zino ziba ziraga ekifo ekikolwa we kikolebwa okugeza; wansi, wabbali, waggulu, wakati, enkoto, wabweru,

Ebyokulabirako

Essaawa yange giteeka wansi

Kasooli oyo mwokyeze enkoto

Twamusanze wabweru ng’asitamye

  1. Nnakongeza kikolwa ezeempisa/ezengeri (adverbs manner)

Zino ziraga engeri ekikolwa gyekikolebwamu era tulinamu bulungi, bubi, mpola, ssimbo, kimpowooze, kibwatukira.

Ebyokulabirako        

  • Ssebaana awandiika bubi era ebintu bye tebisomeka
  • Mukyalawe ayogera mpola nnyo
  • Gwokyalya atambuza ssimbo
  1. Nnakongeza kikolwa enzigumizi

Zino ziba zitulaga amaanyi ageeyambisiddwa mukukola ekikolwa kyeziba ziriraanye okugeza nnyo, ddala, nnyini.

Ebyokulabirako

  • Omwana amukubidde ddala n’akaaba
  • Nambogo alya nnyo emigaati

Twasaalirwa nnyo nnyini ddala

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Scroll to Top