Nnakongeza linnya (adjective)
Kino kyekigambo ekyongera okunnyonnyola ku linnya
Kino ekigambo kibeera kitulaga enkula, enfaanana, omuwendo, n’eneeyisa.
Ebika bya Nnakongeza linnya
- Nakongeza linnya ezempisa
Zino ziba ziraga engeri erinnya erikuweereddwa gyelyeyisaamu era nga mulimu zino -wombeefu, -gayavu, -yonjo, -sirifu, -jjagujjagu, -lalu, -kyafu nendala. Okugeza;
Omuwala oyo muwombeefu nnyo ekissuse
Ako akalenzi kagayaavu tekasobola mirimu
- Nakongeza linnya ezengeri/enkulu.
Zino ziba ziraga engeri erinnya gye lyakulamu era nga zezino –gezi, -wanvu, -yimpi, -nene, -gagga, -tono, -gazi. Okugeza;
- Omuwala muwanvu naye ate kitaawe mumpi.
- Embuzi ye nnene era ezitowa nnyo
- Kalule mugezi nnyo
- Olugoye lumyufu
- Nakongeza linnya ezoomuwendo/eziraga obungi
Zino ziba ziraga omuwendo gwerinnya eriba lyegerwako era zezino ntoko, nkuyanja, nfaafa, munaganwa, kkekwa, bonsattule. Okugeza;
- Ebijanjaalo nina nkuyanja
- Abasomesa batono mu ssomero
- Abalenzi bonsattule babatute ku kibuga
- Nakongeza linnya endazi
Zino zeeyambisibwa mu kulaga erinnya weriri era efaanagana ne nakasigirwa endazi era zezino –no, o, -li okugeza;
- Omuwala oyo mwagala nnyo
- Essomero lino erya St. Juliana ddungi
- Akambe ako kampe
- Nakongeza linnya embuuzi
Zino nazo zeeyambisibwa mu kukola ebibuuzo era nazo zifaanana ne nakasigirwa embuuzi wabula ze ziteekwa okubeera n’erinnya eryogerwako.
Ebyokulabirako
Abalenzi bameka abatuuse wano?
Kyagera ki gw’obadde otugamba?
Entebe eriwa gy’ontumye?
- Nakongeza linnya ezoobwannanyini
Zino zibeera ziraga obwannanyini ku linnya lye ziba zoogerako okugeza;
Akatabo kaffe kano kanyuma
Amenvu ge mavundu
Abaana be babbi nnyo
Okwegezaamu
Saza ku Nakongeza linnya eziri mu sentensi era ozituume amannya
- Taata we mukambwe nnyo
- Makeeka ki gwe bakutumye
- Abawala abeeru benfiirako
- Musiitwa ebijanjaalo alina nkuyanja.
