Full Luganda Notes on Nakasigirwa (pronouns)

Nakasigirwa (pronouns)

Nakasigirwa kyekigambo ekisigira oba ekiyimirirawo kubwerinnya ly’omuntu oba ekintu okugeza ffe, mmwa, nze, mu, ba, ye, ku, bo.

Ebika byanakasigirwa

  • Ezoobuntu
  • Ezoobwananyini
  • Endazi
  • Embuuzi
  • Entabaluganda
  • Nakasigirwa eziggumira

Ezoobuntu

Zino ziyimirirawo kubw’omuntu era nga zawulwamu ebika bino wammanga.

  1. Nakasigirwa ezoobuntu ezeemala

Zino bweziba zikozeseddwa mumboozi zisoboka okuyimirirawo zokka nezisigala nga ziwa amakulu.

Omuntu                Bumu                    Bungi

Asooka                   Nze                       Ffe

Owookubiri             gwe                       mmwe

Owookusatu           ye                          bo

Ebyokulabirako

Nze namugambye okulima

Ffe tuwaase emmere eyo

Singa teyabadde ye kutuvuma tetwandimukubye

  • Nakasigirwa ez’obuntu eziteemala

Zino tezisobola kuyimirirawo zokka okuggyako nga zikozeseddwa mu mboozi/ssentensi okugeza a-, o-, ku-, mu-, n-

Ku nakasigirwa zino zawulwamu ebiti bibiri omuli

  1. Enkozi

Zino zibeera ziraga omuntu oba akola ekikolwa era zezino;

Omuntu                Bumu                    Bungi

Asooka                   n-                          Tu-

Owookubiri             o-                          Mu-

Owookusatu           a-                          Ba-

Ebyakulabirako

Ntunda emmere

Oyagala kukolaki ssebo

Namuganga ayimba bulungi nnyo

Abaana batudde.

  1. Ezikolebwako

 Zino ziraga omuntu abeera akolebwako ekikolwa (object) era ze zino;

Omuntu                Bumu                    Bungi

Asooka                   -n-                         -tu-

Owookubiri             -ku-                       -ba-

Owookusatu           -mu-                      -ba-

Ebyokulabirako

Babakubye

Ankubye oluyi

Akuvumye nakusekerera

Yatugulira ebirabo bingi

Nakasigirwa ezobwannayini

Zino zibeera ziraga omuntu alina obuyinza ku kintu okugeza –ange, affa, o, e, abbwa, -ammwe.

Omuntu                Bumu                    Bungi

Asooka                   -ange-                    affe

Owookubiri             -o                          -ammwe

Owookusatu           -e                          -abwe

Ebyokulabirako

Genda ondeetera yange yokka

Mugambe akuwe ku yiye yokka

Ago amata gaabwe

Atute ebitabo byaffe naye teyabiziza

Nakasigirwa endazi

Zino zaawulwamu emirundi esatu era nga ze zino.

  1. Eraga ekintu ekiri okumpi n’ayogera era eragibwa nennyingo –no okugeza.
  2. Bano baana bange
  3. Wano we wange
  4. Eziraga ekiri okumpi negwebalaga so ng’ate kiri wala nnyo alaga era eragibwa n’ennyingo eya –o. okugeza;
  5. Eyo mbwa yange
  6. Wabula ako akawala kalungi
  7. Eziraga ekiri ewala ewabombi (alaga ne gwebalaga). Eno eragibwa n’ennyingo eya –li okugeza.
  8. Kali akasimu kange
  9. Kiri ky’emutumye kijja kukola bulungi

Nakasigirwa ezibuuza/embuuzi

Zino ziwandiikibwa singa mu ssentensi mubaamu okubuuza era zezino Wa? Tya?, Ddi?, Ani?, Ki?, Lwaki?, Mmeka?

Ebyokulabirako

  • Lwaki atudde wano?
  • Ani akugambye?
  • Bammeka abalidde emmere?

Nakasigirwa antabaluganda

Eno nakasigirwa eba eretawo oluganda oba enkolagana wakati w’erinnya n’ekikolwa. Erinya liyinza okuba nga lye likola ekikolwa okugeza kye, bye, ge, ze, be.

Nakasigirwa entabaluganda zaawulwamu emirundi esatu eranga ze zino.

  • Entabaluganda enkozi
  • Entabaluganda ekolebwako
  • Nnakasiba
  1. Entabaluganda enkozi

Nakasigirwa eno egattibwa ku kikolwa na yongeera amanyi mulinnya. Era zezino a, w, e okugeza;

  • Omwana atambula bulungi
  • Agalenzi ogutambula gukyafu
  • Ente erya omuddo buli lunuka
  1. Entabaluganda ekolebwako

Zino ziba zireetawo oluganda wakati werinnya erikolebwako ekikolwa n’ekikolwa kye nnyini ekikolebwa.

Ebyokulabirako

  • Abaana be walabye babbi
  • Omuwala gwe watumye akamyewo
  • Ebitabo by’oleese babibbye
  • Omusawo gw’oyise agambye ajja
  1. Nakasiba

Kano kekagambo akabeera kannyonyola erinnya kyeriba likola mumboozi. Kafaanagana ne nakasigirwa entabaluganda ekolebwako naye enjawulo erabikira mukwogera okugeza;

  • Omulawo gwe baleese gwe gugoya akawunga
  • Amagi ge bamuwadde ge gaatise

Nakasigirwa eziggumiza/enziggumizi

Zino ziba ziggumiza ekyo ekiba kyogerwako n’olwekyo ziba zongera amaanyi kulinnya eryogerwako mu mboozi.

  1. Yo ente nnene
  2. Byo byebiyulise
  3. Bo bebakubye empi
  4. Go gendeese

Wetegereze. Nakasigirwa ezoobuntu ezeemala zonna zisobola okukola ng’eziiggumizi okugeza

  • Ggwe obbye essimu
  • Nze mpuliriza amawulire
  • Mmwe mubadde mutambula

Okwegezaamu

Saza kuzinakasigirwa eziri mu sentensi zino era ozituume amannya gaazo.

Kino ekitabo kiyulika mangu

Mumugambe aleete bitono

Ente gyebaatemye enaatera okufa Owange namukyawa lwabunyoomi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Scroll to Top