ENKOZESA Y’OBUBONERO MU LUGANDA (FULL NOTES) new

ENKOZESA Y’OBUBONERO MU LUGANDA (PUNCTUATION MARKS) 

Mu luganda tulina obubonero bungi ate obwenjawulo bwetweyambisa nga tuwandiika ssentensi wamu n’emboozi okusobola okugifuula ennyuvu n’ekuwa amakulu. Buno bwena obubonero bw’oluganda.

  1. Akatonnyeze/akafundikira (full stop)

Akabonero kano kakozesebwa bwekati;

  1. Mukumaliriza ssentensi okugeza; Omusomesa mulwadde.
  2. Nga tisirisa ebigambo okugeza Owek. Mw. U.N.E.B
  3. Kakozesebwa nga twawula emiwendo n’ennaku z’omwezi okugeza 14.6.2017.
  4. Nga tuwandiika emboozi ebeera erina ebigambo ebibuukiddwa okugeza; Nakamanya yagamba nti tayagala kumweraga era oluvannyuma nabavuma.
  5. Akabuuzi (?) (Question mark)

Kano kakozesebwa singa emboozi eba yetaaga ekyokuddamu oba ngerimu obugambo obubuuza okugeza;

  • Mugenda ddi ku luzzi?
  • Babadde ki abo abatuleekanira?
  • Omwana azanyira munkuba talwale?
  • Obuwaabi (“ ‘’) (Quotation marks)

Buno tubukozesa singa tuba tulaga;

  1. Ebigambo ebisimbulize okugeza bayibbuli egamba nti “Kitaawo ne nnyoko obasangamu ekitiibwa.
  2. Singa tuba tukozesa ekigambo ekitali kyalulimi lwaffe okugeza; Omutanda yawayizaamu ne “president” weggwanga kunkola ya “fedral”
  3. Singa wabeerawo ekyokusaako essira okugeza; “okusoma” kutuusiza bangi kubirungi.
  4. Okulaga ebigambo ebyayogerwa/ebyawandiikibwa omuntu omulala okugeza; Omukulu wesomero agambye nti “abayizi bonna abatanasasula bisale bakudizibwayo ewaka”.
  5. Akasaze (-) (Dash)
  6. Kakozesebwa okugatta ebigambo okugeza nnyonyintono, mbuzi-ekogga.
  7. Keyambisibwa mukwawulamu ekigambo ekiba kikutuddwamu kunkomerero yolunyiriri.
  8. Kakozesebwa okuwandiika ennaku z’omwezi okugeza 6-8-2018.
  9. Kayinza okulaga okutuusa okugeza; Soma olupapula lwa Bukedde okuva ku muko ogwo 8-9.
  10. Akamenyi (;)

Kano kakozesebwa okugatta ssentensi kyoka ng’ate zisobola okuyimirirawo zokka neziwa amakulu okugeza; abayizi abasoma ennyo bayita; abalagajjavu tebasoma bulungi.

  • Obukomera ( ) (brackets)

Buno bukozesebwa okulaga nti ebigambo ebiteereddwa mubukomera biwa amakulu gegamu nebyo ebidiridde. Okugeza; Maama wa Buganda (Nnaabagereka).

  • Akasittale (/) (stroke)
  • Keeyambisibwa mukuwandiika ennaku z’omwezi wamu ne miwendo emirala okugeza 6/4/2018.
  • Keeyambisibwa mu kifo kyekigambo okugeza; omuwala/omulenzi gwetwetaaga.
  • Akawummuza (,) (comma) 
  • Keeyambisibwa mukwawula ebintu ebimenyeddwa. Okugeza Tulina amatooke, lumunde, kasooli, fene wamu ne balugu.
  • Mukusala mu ssentensi empanvu okugeza; Mwami kyambadde, gwewalabako kululi, akutumidde nnyo.
  • Akeewunyi (!) (exclamation mark)

Kano kakozesebwa musentensi erimu okwewuunya, okusaasira, okunnakuwala, okwemulugunya oba okwekubagiza okugesa;

  • Magala nga yalaba okufiirwa!
  • Bambi ng’olabye!
  • Nnyabo, nnyabo, nnyabo wulira ebyo ate!
  •  Akanjuzi: (colon)

Kakozesebwa nga waliwo ebintu ebigenda okwanjulibwa okugeza. Emmere ey’omuttaka tulina nga: lumonde, muwogo, balugu, endaggu, nandigoya nendala.

  1. Akassukkize apostrophy (‘)
  2. Kakozesebwa okugatta nakataba oba entababigambo kukikolwa okugeza;
  3. N’agamba so si ne agamba
  4. Ng’ayogera so si nga ayogera
  5. N’akaaba so si ne akaaba
  6. Kakozesebwa okugatta nakasigirwa entabaluganda ekolebwako kukikolwa okugeza;
  7. Omwana gw’olabye so si omwana gwe olabye
  8. Ekikopo ky’agamba so si ekikopo kye agamba
  9. Kakozesebwa okugatta nnakasiba kukikolwa okugeza;
  10. Ensuwa z’atambuza zaatise
  11. Amata g’ayiye munva.
  12. Kakozesebwa okugatta nakasigirwa eyobwanannyini kulinnya okugeza;
  13. Omukyala w’omwami
  14. Abaana b’eMityana

Wetegereze

Tetuteeka kassukkize ku mannya gankalakalira okugeza;

Amiini ne Obote so si Amiini n’obote

Owoomuluka so si Ow’omuluka Owessaza so si Ow’essaza

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Scroll to Top