EBIGAMBO EBIGATTIBWA
Muluganda mulimu ebigambo ebigattibwa kubinaabyo newankubadde nga mungeri biri bibiri era nga byandibadde byawulwamu mu mpadiika. Muluganda tugatta ebigambo mengeri zino wammanga.
- Ngatuwandiika amannya agava mungero okugeza Basajjassubi, Nnyonyintono, Kiriggwajjo.
- Amannya g’ennaku za wiiki okugeza; olw’okuna, olw’omukaaga.
- Ngatuwandiika ebikolwa ebiddiddwamu okugeza; temaatema, Salaasala, buukabuuka.
- Amannya agalaga oluganda okugeza; Kitaffe, Ssengagge, bannyaffe.
- Obugambo buno, nga, ku, mu, yo, ne wo bwebuba busembye kukikolwa tubugattako okugeza;
Tuulako wansi
Nnyimbiraamu akayimba
Twayimbanga babiri
- Amannya ag’ebyobufuzi nago gegattibwa tegawulwamu okugeza oweggombolola, oweessaza, oweessiga, owoolunyiriri.
- Amannya agava mubikolwa okugeza ebyokunywa, ebyobulunzi.
EBIGAMBO EBITAGATTIBWA
- Ssenfo ziwandiikibwa zokka mu bbanga okugeza;
- Genda mu kinaabiro
- Tuula ku mmeeza
- Twagendayo ku olwo
- Wano e Buganda tulima amatooke
- Obugambo obubuuza; lwaki, ani, ki, ddi okugeza;
- Lwaki oneesibako?
- Ani akubye omwana?
- Bantu ki abavumye omusawo?
- Obugambo obuyunzi okugeza; nga, ne, ate, so era nabwo buwandiikibwa bwokka mubbanga singa ekigambo ekibuddiridde kiba tekitandika nampeerezi okugeza;
- Musisi ne Nalule basoma ekitabo.
- Ssali akaaba nga bwadduka
- Obugambo obulaga obwannanyini okugeza; za, lye, bye
- Embuzi za maama zikutudde
- Ettooke lye lyengedde
- Ebitabo bye babibbye
- Akagambo akagaana aka “si” bwekaddirirwa ekigambo ekirala nga si kikolwa kawandiikibwa mu bbanga okugeza; Nalweyiso si mulungi mulwadde.
OBUGAMBO OBUGAANA
Muluganda obugambo obugaana bulimu busatu era bwebuno si, te, obuta.
ENKOZESA YA SI
- Tukozesa akagambo si nga tugaana mu muntu asooka okugeza; simukubye, sigenda, siwemuka.
- Kafuuka sa mukiseera ekyayita oba ekyayise okugeza;
Saagala baana banempankirako
Saagenze (ekyayise)
Saamulabye
- Twongerako “I” singa tuba tugaana mukiseera ekijja olwo kukikolwa netusembyayo “E”
Siibireete, siiweemuke, siirime
- Mukiseera ekirija emboozi efaanana bweti sirimutwala, siriwemuka, sirimwebaza.
Wetegereze
- Si tegattibwa kukigambo singa eba eddiriddwa nakingeza linnya okugeza; Nakiganda si muwanvu.
- Tegattibwa kukigambo kirala kyonna singa eba eddiridde erinnya okugeza; Kayobyo si Kataayi.
ENKOZESA YA “TE”
- Akagambo kano keyambisibwa mu bantu abalalabonna abasigaddewo okuggyako asooka mubumu nga bwetwalabye waggulu. Okugeza;
- Tetumulabye
- Temumwemalizannyo
- Tebawandiika bulungi
- Kafuuka “to” mu muntu owookubiri okugeza;
- Tojja kufuka wano nga tukulaba.
- Tomutwala ajja kulwalirayo
- Tonaaba
- Bwetuba tugaana mu muntu ow’okusatu kafuuka “ta” okugeza
- Tayagala muntu amunyizaako
- Tajja kufuka wansi wa muti ogwo -
- Kitaffe talina nsimbi
ENKOZESA YA BUTA
Kano kasigga kakozesebwa nga tugaana naddala kubikolwa ebitaliiko kkomo naddala ebitandika ne “ku” oba “oku” okugeza;
- Okusoma - obutasoma
- Okufa - obutafa
Okulima - obutalima
