AMATEEKA AGAFUGA EMPADIIKA YA JJ NE GY, GGY NE J
GGY
Ekozesebwa okulaga;
- Ekintu ekipya - olugoye oluggya
- Ekifo weebaziika - Ekiggya kya Sir Apollo
- Ekiwaawo ky’entamu - Oluggyo
- Ekifo enju wetunudde - Oluggya
- Ennuggu oba ensaalwa - omukazi wabuggya
- Ekikolwa to “remove” - omuwala yaggyawo olugoye wansi
Enkozesa ya JJ
- Omuntu okuba mukubo - to come okugeza maama ajja leero
- Okulaga ekikolwa ekiteemala/ekiyambi - tujja ku mulaba ng’azze.
- Amannya agali mulubu lwa “5Li” okugeza; Ejjinja, ejjobyo, jjuuni nebirala
- Okulaga ebiseera - yamulabye jjo, twagendayo jjuuzi.
Enkozesa ya Gy
Ekozesebwa okulaga;
- Nakasigirwa ezobwanannyini - Emiguwa gye gibuze
- Nakasiba - emiyembe gye gyegivunze
Ebigambo ebirina amakulu g’okugya “to fit” Abayizi bangi era tebagya mu kibiina
