ENSIRIFU
Ennukuta zino ziyitibwa ensirifu lwansonga nti tezisobola kuyimirawo n’ezikola eddoboozi nga tezigatidwako mpeerezi. Zino zaawulwamu ebiti bibiri era byebino.
- Nakinyindwa
- Nampawengwa
NAKINYINDWA (EZOMUNYINDO)
Zino ziyitibwa ezomunyindo olwensonga nti ebiseera ebisinga zaatulirwa munyindo era ze zino (n, m, ny, ŋ).
Amateeka agafuga zinakinnyindwa.
- Nakinyindwa “m” ne “n” bwezigattibwako ensirifu endala ku kkono waazo tetuwangaala okugeza
Ekifu Ekituufu
Ekitaanda Ekitanda
Ekiroombe Ekirombe
- Nakinyindwa “m” ne “n” bwezigattibwako ensirifu endala ensirifu eyo tesobola kuggumira okugeza.
Enjjala Enjala
Omunttu Omuntu
Akambbe Akambe
- Nakinyindwa tezeriraana mukigambo okugeza;
Nŋoma Ŋŋoma
- Nakinyindwa eya “ny” teyeddiŋŋana mukulaga okuggumira nga bwekiri kunsirifu endala mukigambo.
NAMPAWENGWA
Zinoennukutazikolangempeereza ate olulala nezikola nge ensirifu era zezino
Amateeka agafuga Nampawengwa
Ennukuta zino teziguumira mukigambo okugeza;
Okuyyiga – okuyiga
Okulyya – okulya
Yyalinze – yalinze
Nampawengwa beeyegatta kunsinfu endala empeerezi kuddyo tewangaala nebweriba eddobozi liwangaala okugeza;
Omwaaka – omwaka
Emyaalo – emyalo
Omwaami – omwami
Nampawengwa bwe yegatta ku nsirifu endala empeerezi ku kkono esobola okuwangaala ekigambo ekibamu eddoboozi eriwangaala.
Okugeza;
Ekitiibwa,
omutiibwa nebirala.
KYEWAGGULA
Zino z’ennukuta awamu nebigambo ebitakiriziganya natteeka lyetulabye waggulu era mu zino mulimu.
- Ennukuta eya “ny” ebalibwa ng’ennukuta emu era tekiriziganya n’ateeka lyetulabye waggulu.
Singa ennyingo eba ekoleddwa “gg” ne tugattako nampawengwa nayo tefugwa tteeka eryo okugeza eggwaatiro, eggwooleso nebirala
