SSENFO/NAKALAZI (PREPOSITION)
Buno bwebugambo obweyambisibwa okulaga ekifo.
Obugambo buno buli buna era bwe buno mu, ku, e, wa
Ebyokulabirako
- Essowaani eri ku mmeeza
- Genda okebere mu nsawo
- Kawooya agenze e Kampala okulambula
- Omwana yekwese wansi wa kitanda
Wetegereze: Obugambo buno buwandiikibwa bwokka mubbanga.
Busobola okugattibwa kunkomerero yekikolwa olwo nebufuuka enzirugaze
Ku - Ko
Mu - Mu
E - yo
Wa - yo
Ebyokulabirako
- Gendayo omumpitire
- Tombamirako otyo
- Tuulawo tovaawo
ENTABA BIGAMBO
Buno bwebugambo obweyambisibwa okugatta sentensi emu kundala okufuna emu. Okugeza singa, oba, ne nga, mpozi, sinakindi, wadde, era, ate, kyokka, naye, n’ewankubadde.
Ebyokulabirako
- Bamutumye kubanga mugezi
- Namayanja ne nakyagaba baayombye
- Omusomesa yakubye omwana nga mulwadde
OBWEWUUNYI (INTERJECTIONS)
Bino byebigambo ebiba biraga okwewunnya, okwennyamira, awamu n’okusaasira okugeza bambi!, nga olabye!, woo!, kyokka nnyabo!.
Ebyokulabirako
- Nga mulabye okubbibwa!
- Nga kitalo nnyo!
- Bambi asanze amaze okufa!
