OKUWANGAALA MU LUGANDA, Ddi lwetuwangaala?

OKUWANGAALA MU LUGANDA

Okuwangaala kwekuwandiika ennukuta empeerezi bbiri nga zifaanagana awamu mukigambo. Okugeza; okuwaata, obukeedo, okuwandiika.

Ddi lwetuwangaala? 

  • Singa ekigambo kibaamu eddoboozi eggwanvu. Okugeza okuwooma, okukaaba, okuseera nebirala.
  • Singa ekigambo kiba kyagandawazibwa. Okugeza; essaati, ekkooti, emmeeza, essaawa, nebirala.
  • Singa tusala okulinnya okugeza Sseemu, Nnaamu, Nnaabu namalala.
  • Singa tuba tudiŋŋana ekikolwa okugeza; temaatema, limaalima, yuzaayuza nebirala.
  • Nga tuwandiika ekikolwa ekiri mukiseera ekyayita wamu n’ekyayise mumuntu owookusatu mu bungi okugeza baayimba, baasoma, baasomye.
  • Nga tuwandiika ekikolwa ekiri mukiseera ekirijja tuwangaala okugeza tunaalima, banaalya, tunaamulaba

Singa tuba tulaga amannya ag’alaga obusukulumu bw’omuntu okugeza, Ssaalongo, Nnabugo, Ssaabasajja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Scroll to Top