OKUWANDIIKA EMBOOZI MU LUGANDA, Ebika By’emboozi Empanvu

OKUWANDIIKA EMBOOZI MU LUGANDA

Emboozi byebigambo ebisengekeddwa obulungi oba ekitundu ekinyumizibwa nga kyogera ku kintu ekyaliwo ekyafananyiza ekiriwo oba ekirijja ng’akigendererwamu okutuusa obubaka era omusomi oba awuliriza. Emboozi zawulwamu emboozi enyimpi n’empanvu.

Emboozi empanvu

Eno y’emboozi ewandiikibwa ngerimu ebigambo nga bikumibina okutuuka kubitaano (400-500) oluusi luba lugero luyiiye, emboozi ekubaganya ebirowoozo wamu n’endala nnyingi.

Ebitundu by’emboozi

  1. Omutwe

Buli mboozi empanvu ateekwa okubeera n’omutwe kubanga guyamba okusikiriza omusomi.

Wetegereze:

Omutwe gubeera mu nnukuta nnene okugeza

OKUBONABONA SIKUFA

  • Ennyanjula (introduction)

Kino kyekitundu ekiggulawo emboozi, omuwandiisi w’emboozi yenna alina okugiwa ennyanjula ennungi kubanga yeteekateeka omusomi okusoma emboozi.

Wetegereze:

Ennyanjula yetubagulizaako ku makulu g’omutwe gw’emboozi era n’okukoona kubikulu byo’genda okwogerako.

Ebika byennyanjula

  1.  Okusimbuliza

Munnyanjula eno omuwandiisi atandika ne bigambo ebyogerwa oluvanyuma nanyumya engeri ebirala bwebyajjamu okugeza;

NGWA KU MUSEZI

“Woowe maama nfudde nze kiki ekyambagudde okujja eno obwanamunigina ye nga ndabye okuliibwa n’okufiira obwamage. Saategedde nti gano matwale go. Bwentyo bwe nalaajanira omulangatira gw’omusajja ogwali guneesimbye mumaaso olunaku lwetwayolekanya obwanga.

  • Okuluva kuntono

Munnyanjula eno omuwandiisi annyonyola akawonvu n’akagga ku ebyo ebyaliwo ekyo kyeŋŋenda okwegarako kiryoke kibeewo. Okugeza;

NGWA KU MUSEZI

Mu mwezi gwa muwakanya nge nnaku z’omwezi abiri mulumu eddaaza nkumi bbiri mu kkumi namusanvu era sirilwerabira luliranga olwabaddewo eggulo. Awo obudde bwalinga mubwakawoza masiga nasalawo okusiyagguka ηendeka ku kabaga ka munywanyi wange bwetwazirunda anti waaliwo akatemerero bwentyo nange nalina okusayirira engere nange mbeewo ng’omujulizi. Naye mba nakatambulako ebigere nga biibyo, kyenava mpulira embuyaga ekunta. Olwo enviiri n’enziva ku mutwe.

  • Okugereesa

Munnyanjula eno omuwandiisi yeyambisa engero nebisoko olwo natandika emboozi ye. Okugeza

Bagamba nti kyotabulirako muno enseko zikiyitako, era bajajjaffe baali batuufu okugereesa nti enku ennyingi zittamutyabi kubanga kino ekyantuukako kisaana buli muntu antegera agatawulira vvumbe. Kale nno entamu bweyatirwa omugoyo tabanenya, nange bino ebyantuukako tewali gwobinenyeza kubanga nze kamwa koogera nze ayetyabira akalimu obuwuka. Kulunaku olwo baali baŋŋanye okugenda ku mbaga naye nze nenemerako nga mulugwala ku leesu anti owempaka akunama ebiri.

  • Ekinyusi (body/matter)

Kino kyekitundu ky’emboozi omubeera omulamwa gwemboozi era muno tulabiramu ebintu bino.

Kiki ekyaliwo Ekiseera lwekyabeerawo

Ekifo mwekyali  Abantu abakyenyigiramu

  • Okuwunzika (conclusion)

Kino kyekitundu ekisembayo mu mboozi, era kyekigiwumbawumba nga kitulaga ebintu byonna omunyumya byayogeddeko gyebyakkira.

Ebigobererwa mu mboozi

  1. Empadiika entongele (orthography) muno mulimu
  2. Enkozesa ya ggyi, gy, jj, ne ji, r ne l, nampawengwa ne nakinyindwa.
  3. Enkozesa y’ennukuta ennene
  4. Okuwangala n’okuggumira
  5. Omusono (style) muno mulimu
  6. Enkozesa yebisoko n’engero
  7. Enjogera ez’enjawulo
  8. Okuteekamu ebifaananyi ebyenjawulo
  9. Okwogeza ebintu okugeza okukaabya ebinyonyi
  10. Okunnyonnyola enkula y’omuntu okugeza; yalina enviri zamunyerere, omutwe gwamasiga, akayindo kakiraalo, obumwa bwansumbi, amaaso nga gandege, ensingo yabiseera, amatama galiko obunnya, amannyo galimu akazigo, amabeere gabiteeko, ekiwato kya nnumba.
  • Ekinyusi (matter)

Guno gwemulamwa omukulu era ng’osanye okulaga kiki ekyaliwo, ddi, wa, kitya, byakira wa.

Singa omulamwa gusaba nsonga okugeza mu mboozi eyokkubaganya ebirowoozo osaanye owandiike ensonga eziwerera ddala.  

Wetegereze

Ekinyusi kyekitwala obubonero obungi era kitwala obubonero 25

Singa bakugamba nti tebisukka muwendo bweguti kitegeeza nti tolina kusomamu.

Wabula obutakka wansi wabigambo bwebiti kitegeeza nti ebigambo ebikuweeredwa olina okubiyitamu.

Ekigambo ebigambo nga.. Kitegeeza ebyo biyinza okubulako akatono, okuwera oba okusukkamu katono, okuwera oba okusukkamu katono

Ebika Byemboozi Empanvu

  1. Emboozi ennyumya (narrative)

Wano omuwandiisi atuwandiikira ebintu byeyali alabyeko oba byeyawulirako oluusi biyinza okuba ebiyiiye obuyiiye. Egimu kumitwe egigwa wano mulimu;

Okubonabona sikufa ……

Embaga yasasika……....

Nafa essanyu ……….…

Gwowanya eggere…….

  • Emboozi eyokukubaganya ebirowoozo (disclusive)

Eno yemboozi omuwandiisi walina okuwandiika emboozi ngawa ensonga nga kiriziganya oba nga takiriziganya na ndowooza eri ku mutwe ogumuweereddwa. Wabula alina okulaga enjuyi zombi. Asooka kuwagira olwo lwebamuwadde olwo ate nazaako olwo olukontana era lwelufundikira nga lwerulaga endowooza ye. Okugeza

Amassomero gabaana abekikula ekimu gasaanye okuweebwa. Kubaganya ebirowoozo.

  • Emboozi namazima

Eno ebeera ennyonyala amazima agabeera kukintu okyogerako era tekibamu kulimba kwonna. Muno mubaamu emitwe egikwata  kubyobungwa wamu n’ebyo ebintu ebiri mubulamu bwaffe obwabulijjo okugeza;

  • Omuganda n’omuddo
  • Obupangisa lumbe lwakirago
  • Omuganda n’ekitooke

Wetegereze

Wano omuntu tasaanye kukoma kuwandiika migaso gyokka wabula alina okulaga ebintu ebirala byonna ebikwata nku ekyo kyayogerako okugeza.

Omuganda n’omuddo; laga bino

  • Omuddo kyeki
  • Ebika byagwo
  • Emigaso
  • Emizizo
  • Ebibi byagwo, engero ne bisoko ku muddo
  • Okuwunzika.
  • Emboozi eyokwefananyiriza

Wano omuwandiisi yefuula kyatali olwo nawandiika emboozi okugeza singa nali muwala …………………

  • Waliwo emboozi esaba omuwandiisi okuwa endowooza ye kumutwe ogumuwereddwa. Wano omuwandiisi awandiika awagira oludda lwebamuwadde lwokka. Era tawandiika kulula okugeza;
  • “Okugaana abayizi okubeera namasimu kiyingirira eddembe lyabwe” wa endowooza yo

Okuwandiika Emboozi Enyimpi

Mululimi oluganda tulinamu emboozi ennympi era nga zino zisingamu ebiwandiiko ebyenjawulo ng’ebbaluwa, omuko, eggulire, ekiraamo, sitetimenti, ebirango nebirala. Emboozi zino ziba zabigambo nga 200 oba 250 ate aluusi nobutabiweza y’ensonga lwaki ziyitibwa emboozi ennyimpi.

Okuwandiika ebbaluwa

Ebbaluwa y’engeri omuntu gyatusaamu obubaka bwe eri omuntu omulala ng’ayita mubuwandiike.

Ebika byebbaluwa

  1. Ebbaluwa yomukwano /etali ntongole (friendly letter)
  2. Ebbaluwa entongole (official letter)
  1. Ebbaluwa yomukwano

 Zino zebbaluwa zetuwandiikira mukwano gyaffe wamu n’abeŋŋanda zaffe okugeza; maama, ssenga, taata, kojja nabalala.

Byetugoberera nga tuwandiika ebbaluwa z’omukwano.

Endagiriro y’omuwandiisi ku ddyo

  • Ennaku zomwezi
  • Buukawo omusittale
  • Okuwa ekitiibwa okugeza owomukwano Pauline, kitange omwagalwa
  • Mulamuse
  • Mwebaze emirimu
  • Mubuze baali nabo embeera gyebalimu
  • Mutegeeze embeera embeera gyolimu
  • Wandiika ensonga ekuwandiisiza ebbaluwa
  • Fundikira ngo’mwagaliza emikisa gyakatonda.
  • Maliriza nobugambo buno

Nze nfiira bulago wo

Mutabani wo omwagalwa.

Nze okufiirako

Nze akwagala okuzaama

Olwo n’ozaako erinnya lyo wansi

Nabino bikulu

  • Faayo kumpandiika entongole
  • Olulimi olunyuvu era olwabulijo
  • Bwekiba kyetagisa kuleeta nsonga leeta ensonga eziwerako ate ngo’zinnyonyodde bulungi buli emu mukiba kyayo.

Ekibuuzo

Wandiikira mukwano gwo ebbaluwa ng’omutegeeza ensonga eziviirideko okugattibwa ne munno gwolonze mubangi mubufumbo obutukuvu.

Ekyokulabirako

GAYAAZA MANYANGWA

WAKISO

DISITULIKITI

AKP265 KAMPALA

24/GATTONYA/2018

Owomukwano Shanitah,

Oli otya ennaku zino, obulamu bulungi? Gyebaleko gyotusaako engalo kansuubire nti emirimu gigenda bulungi. Baganda bo bali batya? Nange gyendi eno a gayaaza ndi bulungi emerimu gigenda bulungi. Ensonga empandiisiza ebbaluwa eno kwagaka okulaga ensonga kwensinzidde okugattibwa ne munange ono mubufumbo obutukuvu era nga ze ziino.

  • Mukwata mpola
  • Mwesigwa
  • Muntu mulamu
  • Muyonjo
  • Munaddini
  • Yeewa ekitiibwa nakiwa nabalala
  • Muyiiya
  • Alina ssente
  • Mugumikiriza

Mukwano nkwagaliza okubeera obulungi era n’enkusaba naawe bwonaaba onoonya omubeezi ensonga ezo kwoba essimba essira. Katonda akunkuumire.

Nze munywanyi wo

Shamim

Wetegereze

ensonga ezo waggulu zirina okunnyolwa obulungi buli emu mukiba kyayo.

Tussaako mukono

  • Ebbaluwa entongole

Zino zebbaluwa omuntu z’awandiika ngalina ensonga enkulu gyayagala okutuusa eri omuntu oba ekitongole. Okugeza esaba omulimu esaba obuyambi, eziwabula, eyemulugunnya n’endala.

Ebigobererwa mu kuwandiika ebbaluwa entongole   

  • Endagiriro yo kuddyo
  • Ennaku z’omwezi
  • Buukawo akanyiriri
  • Endagiriro yoyo gw’owandiikidde ku kkono
  • Akagambo ssebo/nnyabo
  • Ensonga mubufunze (okugeza Ens)
  • Tuukira kunsonga tolamusa
  • Okulaga essuubi (Nnaasanyuka)
  • Omukono/sayini
  • Erinnya lyo mukyapa (ennukuta ennene)
  • Ekiti mwowandiikidde

Okyokulabirako

Wandiikira omukulu atwala eby’enjigiriza mu disitirikiti yamwe ng’omunnyonnyola ensonga eziviirideko omuwendo gwabayizi okukendeera mu massomero mu kitundu kyamwe.

                                                                             KAWEMPE NABWERU

                                                                             KAMPALA DISITURIKITI

                                                                             AKP 473, KAMPALA

                                                                             12/MUZIGO/2017

OMUKULU WEBYENJIGIRIZA

KAMPALA DISITIRIKITI

AKP 2993, KAMPALA

SSEBO/NNYABO

ENS: ENSONGA EZIVIIRIDDEKO OMUWENDO GW’ABAYIZI OKUKENDEERA MU MASSOMERO MU KITUNDU KYAFFE.

  • Ebisale byamassomero okulinnya
  • Amasomero obutaba namutindo
  • Endiisa yabayizi embi
  • Abasomesa okuganza abayizi
  • Abayizi abawala okufuna embuto
  • Obwavu mubazadde
  • Abayizi okufiirwako abazadde
  • Endwadde eziremesa abaana okweyongerayo

Singa tukolera wamu tusobola okumalawo ekizibu ekyo mukitundu kyaffe kino

Nze okusaamu ekitiibwa

………………………

KIGERE NICHLOLAS

Wetegereze:

 Ensonga ezo zirina okunnyonyolwa obulungi buli emu mu kiba kyayo.

  • Faayo kukumalayo ebigambo n’empandiika entongole

Wewale bino

  • Okukozesa akagambo P.O.BOX wabula kabeera A K P.
  • Okukozesa akagambo (th) kunaku zomwezi

Okugeza 14th/muzigo/2017 kino kiba kikyamu akagambo ako tekabeerako

Okuwandiika eggulire

Bwetuba tuwandiika amawulire tugoberera enkola z’amirundi ebiri ago agasomwa kumpewo wano nagana fulumira muluppapula kyokka wano essira tugenda kulissa kugamumpapula.

Ebikulu ebigobererwa mukuwandiika eggulire

  • Omutwe ogusikiriza
  • Bamukwatidde mu bwenzi (mu nnukuta ennene)
  • Omusasi okugeza bya
  • Lambulula ekyabaddewo
  • Kyabaddewo ddi?
  • Ekifo mwekyabadde
  • Kiki ekyakireetede okubaawo
  • Kyabadde mungeri ki
  • Abantu abenjawulo abakyenyigiddemu
  • Ababaddewo ne kyebagambye
  • Ebyaddiride

Wetegereze

Ensengeka esobola okukyukamu okusinziira kumuwandiisi kyokka ebyo ebiragiddwa waggulu biteekwa okulagibwa.

Tukozesa kiseera ekyayise

Olulimi lwaba nnamawulire nakyo kikulu okugeza;

  • Okusinziira kunsonda ezesigika
  • Kigambibwa nti ……
  • Eyeerabiddeko n’agage

Ekyokulabirako

LWAMUKUTAANO 6 GATONNYA 2018

EBIJANJAALO EBYABBIDDWA BIBAKWASIZZA

Bya: Ssekiziyivu Joshua

Poliisi ekoze ekikweketo nekwata abavubuka 12 abasangidwa nga beekukumye mu motoka eyabadde ekukusa ebijanjaalo ebyabbiddwa mu sitoowa ya ssaalongo Lugemwa David e Busega ku nkulugo mukiro ekyakeeseza olwokusatu.

Kigambibwa nti baasaze kufulu nebayingira munda ne babba ebijanjaalo okusinziira ku Okalebo James omukuumi ku ssundiro lyamafuta e Busega yalumiriza nti yeyabalabye ko nagage nga bambadde bikabuuti olwo kwekutemya ku poliisi. Abasirikale ba flying squad bazingiziza loole eno ey’ekika kya Fuso ku ssaawa nga munaana (8:00) ez’ekiro nebagiyimiriza. Yabadde etisse ensawo z’ebijanjaalo nga nabavubuka babasibedemu emabega ne kufulu kulugi.

Batwaliddwa ku poliisi ye Nateete olwo ne baggulwako omusango gw’obubbi okusinziira ku okulira ba mbega ba poliisi eno Owoori Micheal yavudeyo nategeeza nti wakwongera okuuwa obukuumimu kitundu wamu n’okukola ebikwekweto ebyenjawulo okumalawo obubbi obukudde ejjembe mu kitundu.

OKUWANDIIKA OMUKO

Omuko y’ebbaluwa efulumira mumawulire ng’ewandiikibwa omukuŋŋaanya wamawulire (editor).

Ebikulu ebigobererwa mukuwandiika omuko

Omutwe mu nnukuta ennene okugeza

ABAYIZI BASAANYE BAKENDEEZE OKUTAAYAYA MULUWUMULA.

Okulaga erinnya ly’omuwandiisi

Ekinyusi. Mukitundu kino mwoteeka ensonga ezikuwaliriza okuwandiika nga buli nsonga eri mu kiba (paragraph) kyanjawulo ng’onnyonyoddwa bulungi.

Ofundikira ng’owa omagezi ng’osaba oba nga weebaza.

Osembyayo ebikwata kumuwandiisi omuli amannya ge gyabeera, omulimu gwakola ne nnamba y’essimu kumukono agwa kkono.

Wetegereze

Fuba okuweza ebigambo

Olulimi olunyuvu kikulu

Tosaako mukono gwo

Mukinyusi ssaamu ensonga eziwererako ddala

Ekyokulabirako

Wandiika omuko mu mawulire ng’ottottola ensonga ezireetedde abaana b’ennaku zino okusiwuuka empisa.

ENSONGA EZIREETEDDE ABAANA BENNAKU ZINO OKUSIWUKA EMPISA

Bya Namiryango Jesca

Obutafaayo bwabazadde

Emikutu gyempuliziganya

Obutabuulirwa

Obutaba na ddiini mu mitima

Okwagala ennyo ensimbi

Okufiirwako abazadde

Kavubuka ampaga

Omululu gwensimbi

Okusuulirara obuwangwa

Nja kufundikiira nga nsaba buli gwekikwatako okukolera awamu mukugunjula abaana anti lye ggwanga eryenkya.

Nze Namiryango Jesca

Ndi musomesa ku St. Juliana High school

Gayaaza Wakiso

0701345901

Wetegereze

Ensonga ezo ezeyolekedde waggulu ziteekwa okunnyonyolwa obulungi

OKUWANDIIKA EBIRANGO

Ekirango kyekiwandiiko abantu mwebayisa obubaka bwabwe okubutuusa kubalala nga beyambisa emikutu gyamawulire okugeza laadiyo, TV ne mu mpapula z’amawulire. Nolwekyo mubirango tulinamu eby’omumpapula z’amawulire n’ebyokumpewo.

Ebika byebirango

Ebyokubika, ebyebibuze, ebyamaguzi, ebiranga emirimu eby’emikolo ng’ennyimbe nebirala bingi.

EBIRANGO EBY’OKUBIKA

 Ebikulu ebigobererwa

  • Ennaku z’omwezi
  • Omutwe ogw’okubika
  • Amannya goyo afudde oba abikiibwa
  • Ekifo gyeyabadde abeera
  • Ekifo gyagenda okuziikibwa
  • Olunaku n’essaawa kwanazikibwa
  • Laga abantu boobikira
  • Maliriza ng’obikira abooluganda, abako na be mikwano.

Wetegereze

  • Wandiika mu nnukuta ennene
  • Wandiikira mu muntu ow’okusatu okugeza naddumba fortunate abika …….. so si nze Naddumba Fortunate mbika…….
  • Tolandagga
  • Obulwadde obusse omugezi kebwetaagisa

Wewale bino

  • Tobika kufa kwamuntu bika muntu
  • Tolanga kufa wabula kubika

Ekyokulabirako

22/2/2018

OKUBIKA

KASOLO GERLD OW’EKASANGATI ABIKA MUWALA WE NALUMANSI JOYCE ABADDE ABEERA E LUBAGA WAKUZIIKIBWA NGA 24/8/2018 E SSINGO MITYANA KU SSAAWA KKUMI EZOOLWEGGULO. ABIKIDDE KIWAFU MUSA OWE JINJA, KAYE MATHIAS OWE MITYANA, ABOOLUGANDA ABAKO NAB’EMIKWANO AWULIDDE ATEGEEZE ABALALA BEKIKWATAKO.

Ebirango byebibuze

Ebikulu ebigabererwa

Ennaku z’omwezi

Amanya g’alanga

Ekifo kyabeeramu

Ekintu kyalaga

Enfaanana yaakyo

Olunaku lwekyabula

Gyekisuubirwa okubeera

Ekifo akizuula gyakitwala

Okulaga ekirabo kyoyo anaabeera akifunye.

Wabula bwabeera muntu nga yabuze olina okulaga ekula ye okugeza munene, muwanvu, muddugavu, nebirala

Bweyabadde ayambadde

Embeera gyalimu (bwaba nga omutwe mutabufu nakyo kiwandiike) era n’enimi zaayogera.

Ekyokulabirako

NANYANZI RASHIDA OW’EGOMBA ALANGA MUTABANI WE KYAGERA CHARLES OWEMYAKA ETAANO EYA MUBUZEEKO MU PAAKA ENKADDE. KYAGERA MULENZI MUNENE, MUMPI, WAKATAKETAKE, ALINA AMANNYO GASIRIIRA N’ENSUNDO KU TTAMA, YABADDE AYAMBADDE AKASAATI KEERU NEMPALE YAKYENVU NE BUNIGIINA OBWAKIRAGALA AYOGERA LUGANDA ERA BWOMUBUUZA KITAAWE AGAMBA YE MAGALA PETER ASUUBIRWA OKUBEERA MU BITUNDU BYE NAKIVUBO AMULABYEKO AKUBE KU SSIMU ZINO 0786530547/0701345901 OBA AMUTWALE KU POLIISI YA OLD KAMPALA SENTE ZANAASASANYA ZIJJA KUMUDIBWA ERA EKIRABO AJJA KU KWASAAKO EBIRI.

Ebirango ebyamaguzi   

Ennaku z’omwezi

Omuntu/ekitongole ekiranga

Ekifo mwabeera ne kirangibwa

Enfaanana yaakyo

Omuwendo gwakyo

Galanti

Kozesa obugambo buno laisi, dondolo, atakirizika.

Ekyokulabirako

LAISI ATAKIRIZIKA

KAMPUNI BRENDA’S BEAUTY WORLD ESANGIBWA KU MABIRIIZI COMPLEX OMWALIRIRO OGWOKUSATU, EDDUUKA 269 BATEGEEZA ABAKYALA BONNA NABAWALA NTI BABAREETEDDE AKAZIGO AKAPYA AKA MEDITEX OKUVA MU INDIA. KAKOLA KU MBALABE, KAGONZA OLUSUSU NELUBA NGA OLW’OMWANA KAGOBA EBIDUGAVU EKIKWATA WANSI WEERIISO OLWO WENA N’ODDA BUTO ATE NGA TEKAKYUSA LANGI YO. TOKIRIZA MWAGALWA WO KUKUKYAWA OLW’OLUSUSU. EBBEYI YANSEKO BUSEKO. EDDUUKA LYABWE LIBEERA LIGGULE OKUVA KU BALAZA OKUTUUKA KU LWOMUKAAGA ESSAAWA BBIRI EZ’ENKYA OKUTUUKA KU KKUMINABBIRI EZAKAWUNGEEZI BASUUBUZA NE LEJJALEJJA……. TOSUBWA OMUKISA GUNO

Ebirango ebyemikolo

  • Ebigobererwa
  • Amannya galanga oba ategeeza nagyabeera
  • Omukolo gwalanga
  • Ennaku z’omwezi omukolo bwe gulibaawo
  • Ekifo mwegugenda okubeera
  • Abantu abategeezebwa   

Okuwandiika obubaka obusaasira/obukubagiza

Ebikulu ebigobererwa

  • Endagiriro yawandiika ku ddyo
  • Ennaku z’omwezi
  • Gwokubagiza ku kkono.
  • Ensonga mu bufunze okugeza Ens:
  • Ekitongole /omuntu asaasira oba akubagiza
  • Omuntu akubagizibwa
  • Wandiika obubaka obwanjuluza ngolaga by’ojjukira kumugenzi
  • Laga amabugo gemuwadde
  • Bagaalize katonda obakuume
  • Sabira omwoyo gw’omugenzi
  • Maliririza n’omukono (sayini)
  • Amannya

Ekiti mwawandiikidde

Obubaka bubeera mu muntu owookusatu

Ekyokukulabirako

ST. JULIANA HIGH SCHOOL

GAYAAZA

AKP 4534 KAMPALA

26/11/2017

ERI ABENJU YA

LUTWAMA DUUMU

ENS: OBUBAKA OBUKUBAGIZA/OBUSAASIRA

Omukulu w’essomero, abasomesa awamu nabayizi ba st. Juliana High school batuusa okusaasira kwabwe eri Lawrence Mukiibi olw’okufiirwako kitaawe abadde amuwerera wamu n’okumulabirira. Abadde musajja wakisa alumirirwa ate ddala omuzadde gwetutayinza kuzzaawo era okufa kwe kutulekedde eddibu ddene. Kitalo nnyo kitalo ddala.

Basaaside nnyo ebenju y’omugenzi era ne basaba katonda ayongere okubagumya. Bakutte mu munsawo ne ggyamu amabugo gamitwalo ataano n’omugenzi omwoyo gwe katonda agulamuze kisa.

…………... (sayini)

HENRY MAYANJA NKANJI

OMUKULU WESSOMERO

OKUWANDIIKA OKWOGERA (SPEECH WRITING)

Bwetuba nga tuwandiika okwogera tulina enkola entongole egobererwa era bino wamanga byetutalina kubuusa maaso nga tugenda kuwandiika okwogera.

  • Okumenya abaliwo buli muntu mukiti kye
  • Balamuse mu biti byabwe
  • Weeyanjule amannyago
  • Okwogera ekiti mwoyogerera
  • Yanjula ensonga ekuleesa okwogerako
  • Fundikira ng’owa amagezi oba ng’nnyikiza ensonga gy’oyogeddeko
  • Webaze abantu okukuwuliriza

Wetegereze

  • Tuwandiikira mumuntu asooka okugeza nze
  • Bwekuba okwogera kwetaagisa nsonga, leeta ensonga nga nnyingi ozinnyonnyola bulungi buli emu mukiba kyayo
  • Kozesa olulimi olunyuvu omuli ku bisoko n’engero.
  • Faayo okuweza omuwendo gwebigambo

Ekyokulabirako

Gwe akulira eby’butonde bw’ensi mu disitulikiti yo, mukuŋŋanye okukuza olunaku lw’obutonde bwensi yogera era abatuuze ku mulamwa, ebirungi ebiri mu kusimba emiti.

Ssentebe wa disitulikiti eno, omubaka wekitundu kyaffe kino, Bassetebe b’amaggombolola mwenna ne bakansala, abaami n’abakyala buli omu mukiti kye mbalamusizza. Ammanya gange nze Koni Jossph era nga nze a kulira ebyobutonde bwensi mu disitulikiti yaffe eno. Neebaza omukisa agumpeereddwa okwogerako gyemuli ku mulamwa ogugamba nti ebirungi ebiri mu kusimba emiti. Nga sinaba genda wala kantuukire kunsonga era gino wamanga gyegimu kumigaso

  • Giyamba okutonnyesa enkuba
  • Okufuna ebisiikirize
  • Okwokya Amanda
  • Okufunako ebibala
  • Tufunako enku
  • Okusalamu embawo
  • Gisikiriza abalambuzi
  • Maka ga nsolo ezo’munsiko
  • Gyongera kubulungi bwensi
  • Gikwata ettaka obutakulugguka

Nga maliriza mbasaba mwennamuveeyo tukwatire wamu okutaasa obutonde bwensi nga tusimba emiti wamu n’okukuuma ebibira, mwebale kumpuliriza omukama abankuumire nga mutuuse okuda eka mubeere bulungi.

Wetegereze

Ensonga ezo waggulu zirina okuba nga zinnyonnyoddwa bulungi buli enu mu kiba kyayo.

Okwogera kwo kulaadiyo  

  • Webaze omuteesiteesi
  • Menya ebiti byabantu bo’suubira okukuwuliriza
  • Balamuseeko
  • Okwogera erinnya lyo
  • Okwogera ekiti mwoyogerera
  • Okwanja ensonga
  • Okuweza omuwendo gwebigambo
  • Okukozesa olulimi olunyuvu
  • Beebaze okukuwuliriza.

Okwogera kw’okusumikira

Ebikulu ebigobererwa

Omusumisi ateekeddwa okukola bino

Okwogera amannya ge n’aga jjajjawe

Okwogera obukwatane ku gw’agenda okusumikira

Okwogera amannya g’omusika n’obujjajja bwe

Bwamala ebyo omusumisi alina okubuulirira omusika mungeri yonna gyaba ayagadde.

Okugeza

Ba ssebo ne banyabo essaawa eyokusaako omusika etuuse era mbasaba buli omu alina kyakola akisiriseeko.

Nze agenda okusaako omusika nze Ssempoza Lameka, ndi mutabani wa Ssalongo Kibirige e Kikandwa Ssingo, ndi muzukkulu w’omugenzi kezaala Kalutte agalamidde ekisongolera Ssingo era Ndi muzzukulu wa kyegombe, agalamidde ekisongolera Ssingo era n’eddira ngeye akabbiro kunguvu.

Omusika amannya ge ye Nguuli Muwanga, Mutabani w’omugenzi Tontomera Muzira agalamidde e Masanafu Busiro, muzzukulu wa Kibaako Kakande agalamidde e Masanafu Busiro, yeddira ngeye akabbiro kunguvvu.

Nguuli Muwanga olwaleero nkwambaza ekifundikwa kino nga nkukutira bino;

Okutwala obuvunnanyizibwa eri bano

Okutambuza emirimo kitaawo gyabadde akola

Okugatta bano baleme kwawukana

Kuuma ebyobuggaga byakitaawo

Ojjumbiranga nnyo emirimu gyekyalo

Nkusibira entanda eyokuwulirizanga baganda bo

Obeeranga musajja mukozi

Olyanga n’abantu nga kitaawo bwabadde

Wekwate katonda mubuli kimu era nkwagaliza katonda akukuume era akuluŋŋamye mu buli kimu.

Wetegereze

Ensonga ezo waggulu zirina okunnyonnyolwa obulungi.

Okukola endagano etunda. 

Buno bwebukakafu obukolebwa omuntu alina kyagenda okutunda/okugula naddala ebintu ebikalu era nga bino byebikulu byetugoberera.

  • Ennaku z’omwezi
  • Omutwe okugeza…. endagaano etunda
  • Amannya gumuntu atunda n’egyabeera
  • Nnyonyola bulungi ekintu ky’otunda
  • Bakuwaddeko mmeka
  • Ezisigaddeyo ozifuna ddi?
  • Laga ababaddewo (amannya n’emikono gyabwe)
  • Aguze naye asaako omukono n’erinnya lye
  • Omukono gwatunze n’amannye ge

Ekyokulabirako

                                                                                                22/6/2018

ENDAGANO ETUNDA

Nze Nassaazi Ruth ow’eMukono olwaleero nga 22/9/2018 nguziza Babirye Ritah essimu yange eya Tecno Y2 nga nnamu bulungi. Ngimuguziza emitwalo abiri (200,000) era nga asasude emitwalo kkumi (100,000) ne wasigalayo emitwalo kkumi (100,000) era nga zino wakuzisasula obutassuka ennaku zo’mwezi 22/7/2018.

Ababaddewo

Tamale Raymond    ………………………….

                             Omukono

Lugemwa Baija       ………………………….

                             Omukono

Babirye Ritah          …………………………. (aguze)

Omukono

Nassaazi ruth          …………………………. (atunze)

Omukono

OKUWANDIIKA ALIPOOTA (REPORT WRITING)

Ebikulu ebigobererwa/omusono (style)

  • Omutwe. Guno gibeera munene era gubeeramu bino
  • Ekitongole ekiwandiika alipoota
  • Ebbanga lyokunonyereza
  • Ensonga ewandiikibwako okugeza

Alipoota kubizibu abasibe byebasanga mu makkomera eyakolebwa nga 9 Muzigo-8 Muwakanya 2018 (gubeera mu nnukuta nnene).

  • Ennyanjula
  • Laga ensonga ez’enjawulo kyoka buli nsonga erina okuba n’omutwe gwayo ogwenjawulo (sub heading) era ginnyoyole bulungi
  • Fundikira nga weebaza oba ng’osaba wabeewo ekikolebwa.
  • Teekako omukono
  • Erinnya
  • Ekiti
  • Ennaku z’omwezi

Ekyokulabirako

ALIPOOTA EYAKOLEBWA MINISITULE Y’EBYENJIGIRIZA ERAGA EBYAVA MU KUNOONYEREZA KU KIVIIRAKO ABAANA ABAWALA OKUVA MU SSOMERO NGA TEBAMALIRIZA MISOMO GYABWE EYAKOLEBWA NGA 5 MUSEENENE-10 NTENVU 2018.

Ennyanjula

Bwotunula ebyenjigiriza mu kitundu kyaffe bigenda bisereba. Kino kizeewo olw’ensonga nti omuwendo gw’abaana abawala abaze mu massomero gugenze gulinnya. Okusinziira kukunoonyereza okwennaku zino ze nsonga eziyinza okuba nga zeziretedde abaana abawala okuva mu massomero

  • Okufunira embuto mu ma ssomero
  • Abazadde okufa
  • Okwagala ennyo amasanyu
  • Ebiduula/ebibinja ebitazimba
  • Okwewaggula
  • Obwavu mubazadde nebirala

Okufundikira

Ezo zeezimu kunsonga eziviiriddeko abaana abawala okuva mu masomero era nsaba ensonga ezo zikolebweko kubanga kijja kuyamba ebyenjigiriza n’okutumbula omuwala.

Nze omuweerezawo.

………………………..

Mayinja Ronlad

Akulira eby’enjigirza

16/9/2018

OKUWANDIIKA SITATIMENTI (OBUJULIZI)

Obujulizi bwebubaka obuweebwa omuntu ku ebyo byaba yalabye oba by’eyawuliddeko nga bigwawo. Omuntu bwaba awandiika obujjulizi ateekamu ebyo byokka byeyalabye oba bye yawulidde tusaanye kussamu bya kuteebereza.

Ebigobererwa nga tuwandiika obujjulizi/sitatimenti

  1. Omutwe okugeza obujjulizi ku kabenje dekabusa
  2. Amannya go n’emyaka
  3. Ekifo gyobeera n’omulimu gw’okola
  4. Ekiti mwogwa oli mufumbo simufumbo, muyizi.
  5. Nnanyonyola bulungi ebyabaddewo
  6. Ensonga eziyinza okuba nga zezakireese
  7. Abantu ababaddewo ne kyebakoze
  8. Ebyaddiridde
  9. Omukono gwo
  10. Amannya
  11. Ennaku z’omwezi

Ebyokulabirako

OBUJJULIZI BWANGE KU KA BANJE AKAAGUDE E NATEETE

Nze Nanfuka Phionah (25) nga mbeera Wakaliga ndi mutunzi wa mukene mu katale k’e Nateete era nga ndi mufumbo mpa obujulizi bwange ku kabenje ke nnalabye e Nateete era bino byeŋŋenda okuwa mazima mereere era by’ennalabye enkya yaleero ku ssaawa nga bbiri n’ekitundu nga naakaggulawo omudaala gwange. Nalabye emotoka eyekika kya Tipa eyabadde ettise amatooke bweyayingiride abakyala ababadde betundira emirengo gy’emmere ku kubo. Emotoka eno yabadde enoonya wa kusimba buleeki ne zigaana okusiba olwo neyingirira abantu ababaddewo nebagoya bwenvu era bana ku bo bafiiriddewo.

Kubaafudde kwabaddeko Nabuzaana Joyce yabadde atunda matooke, Namusoke Perusi yabadde atunda obutungulu, Kizza Butyampa yabadde atunda lumonde ne Matyansi Zonnie eyabadde atunda enseenene ensiike. Abalala bana balumiziddwa nnyo era nebatwalibwa muddwaliro e Lubaga nga biwala ttaka.

Omugoba w’emotoka ye yatadeko kakola tondeka nnyuma kyoka nga wayise edakiika nga ana (40) poliisi wetuukidde n’esikawo emotoka n’etwalibwa ku poliisi y’eNateete era n’emirambo n’egitwalibwa mu ggwanika mu ddwaliro e Lubega.

Ebyo bye nalabye.

……………………………

NANFUKA PHIONAH

17/2/2018

OKUWANDIIKA EKIRAAMO

Kino kyekiwandiiko ekiraga ebintu by’omuntu ebikalu n’engaba yaabyo singa aba afudde.

Bino by’etugeberera nga tuwandiika ekiraamo

  • Ennaku z’omwezi
  • Omutwe okugeza ekiraamo
  • Weeyanjula ebikukwatako okugeza amannya, emyaka, abakuzaala, ekika ne gyobeera.
  • Laga embeera gy’olimu
  • Laga abakyala n’abaana
  • Ebyobugagga byo
  • Laga engaba y’ebintu
  • Laga omusika
  • Omukuza w’abaana naye mulage
  • Laga engeri gyoyagala bakuyiseemu ng’ofudde n’ewonoziikibwa.
  • Teekako amannya go n’omukono gwo
  • Laga abantu ababaddewo era bowadde ku kiraamo.

Ekyokulabirako

                                                                                                               24/2/2018

EKIRAAMO

Nze Kalyesuubula Patrick (39) mutabani wa Kiyingi George e Kassanda mu Ssingo, muzukkulu wa Lutalo e Bukuya mu Ssingo era nga n’eddira Ndiga. Nkola ekiraamo kyange kino nga ndi mulamu bulungi nga tewali ampaliriza. Nina omukyala omu nga ye Nandujja oliver abeera Najjanankumbi era nga y’emaama wa baana bange abasatu nga ababiri balenzi omu muwala era bebano;

  • Kiguli Joseph (16)
  • Nkonge James (10)
  • Nakiyingi Juliet (8)

Ebintu by’enina mulimu ekibanja kimu ekisangibwa a Buloba nga kiwerako eka nnamba era kuno kuliko olusuku.

Nina pikipiki bbiri nga zikola bodaboda, emotoka ey’ekika kya Kamunye ku nnamba UAZ 274Y ng’ekola TAXI e Nateete.

Engaba y’ebintu.

Mukyala wange n’omuwala mbawadde ekibanja ky’e Buloba n’emotoka. Abaana bange abalenzi mbawadde pikipiki buli omu atwaleko emu. Ssente eziri ku accout nnamba 32016238590 mu DFCU Banka nzirekedde muwala wange ziri obukadde butono.

Bwembaga nfudde omusika wange ye Nkonge James ate omukuza w’abaana ye mwami Kyalimpa Simon ow’eNateete, nziikibwanga ku kiggya kyaffe e Bukuya era olumbe lwange mulwabizangawo nga mwakava emagombe. Baana bange mbakuutira okuba n’empisa okwagala eddiini yammwe wamu n’okulumirirwa olulimi lwamwe.

Nze Kalyesuubula Patrick             Sayini …………………….

Ekiraamo nkiwaddeko

Ssetuba Timothy ow’eLugogo Wasswa Peter ow’eNamugongo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Scroll to Top