EBIKOLWA
Kino kye kigambo ekiraga omukozi (subject) kyakola okugeza; okuwandiika, okuzimba, okulima, okulya.
Ebika byebikolwa.
- Ebyemala
Bino byebikolwa ebisobola okwetengerera byokka ate ne biwa amakulu ne bwebitabeera mu sentensi. Ebikolwa bino tubyawulamu emirundi ebiri era nga bye bino.
- Ebyetaaga erinnya erikolebwako
Bino biba byetaga erinnya erikolebwako okusobola okuggyayo amakulu n’okumalawo okubuusabuusa. Okugeza
- Okuvuga (emmotoka, eggaali, ekipiira)
- Okukuba (emisota, engalo, ebijanjaalo)
- Okulunda (enkoko, ente, enjuki)
Ebyakulabirako
- Maama musanze atema nku
- Akalenzi kaali kalunda nte
- Nabuuma tumulese alya mucungwa
- Ebitetaaga linnya likolebwako
Bino biba biwa amakulu ne bwetuba tetutadeeko kikolebwako okugeza; okuseka, okutunula, okwebaka, okufa, okukaaba ne birala.
Ebyokulabirako
- Omuwala tumasanze atunula
- Lekeraawo okwebakira mukibiina
- Omusomesa asumagira naye tumulabye
- Ebiteemala
Bino bikolawa ebikolwa ebiyambi era nga bibeera biyamba kukikolwa ekikulu ekiri musentensi okugeza tera, gira, va, jja, bade, mala, sooka, lyoka, li.
Ebyokulabirako
- Musooke musome olwo mulyoke mufune emirimu
- Abayizi bava kukola kigezo
- Bajja kukuvuma singa abanyiiza
- Temutweralikirira tunaatera okubaviira ewammwe
Nnakongezakikolwa (adverb)
Kino kyekigambo ekyongera amakulu kukikolwa era kiba kyongera okulaga engeri ekikolwa gyekikolebwamu.
Ebika bya Nnakongeza kikolwa
- Nnakongeza kikolwa ezebiseera (adverb of time)
Zino ziba ziraga ekiseera ekikolwa lwe kyakolebwa era kiba kiddamu ekibuuzo ddi? Okugeza, ttuntu, jjo, luli, nkya.
Ebyokulabirako
- Twatuuse kawungeezi
- Oluganda tulusama mukalasamayanzi
- Nnakongeza kikolwa azeebifo (adverbs of place)
Zino ziba ziraga ekifo ekikolwa we kikolebwa okugeza; wansi, wabbali, waggulu, wakati, enkoto, wabweru,
Ebyokulabirako
Essaawa yange giteeka wansi
Kasooli oyo mwokyeze enkoto
Twamusanze wabweru ng’asitamye
- Nnakongeza kikolwa ezeempisa/ezengeri (adverbs manner)
Zino ziraga engeri ekikolwa gyekikolebwamu era tulinamu bulungi, bubi, mpola, ssimbo, kimpowooze, kibwatukira.
Ebyokulabirako
- Ssebaana awandiika bubi era ebintu bye tebisomeka
- Mukyalawe ayogera mpola nnyo
- Gwokyalya atambuza ssimbo
- Nnakongeza kikolwa enzigumizi
Zino ziba zitulaga amaanyi ageeyambisiddwa mukukola ekikolwa kyeziba ziriraanye okugeza nnyo, ddala, nnyini.
Ebyokulabirako
- Omwana amukubidde ddala n’akaaba
- Nambogo alya nnyo emigaati
Twasaalirwa nnyo nnyini ddala
