LUGANDA NOTES – EMBEERA WAMU EMPEEKERA

EMBEERA MU LUGANDA (MOODS)

Embeera kitegeeza engeri gyetuba twewuliramu.

Bulijjo emboozi zetwogera zisinziira kumbeera gyetulimu

Ebika by’embeera z’ebikolwa

  1. Embeera y’ekikolwa etaliiko kkomo

Eno y’embeera eragibwa n’ekikolwa ekiriko ennyingo ku oba oku era nga kiraga embeera eriwo ate nga terigwawo okugeza;

  • Okulima Kuvaamu ensimbi
  • Abaana okusoma kirungi
  • Okulya kintu kikulu nnyo
  • Embeera y’ekikolwa ey’akakwakkulizo

Eno yembeera eraga ebintu ebibiri ng’ekimu okubaawo waliwo ekiba kirina okusooka okukolebwa olwo nekirala nekibaawo. Okugeza;

  • Bandiyombye singa babawadde amenvu
  • Maama taba kujja sandize
  • Mba kufirwa mwana, ssaalize wano
  • Embeera y’ekikolwa eyagaliza

Eno y’embeera y’ekikolwa ebaawo singa tuba twagaliza bannaffe ekintu  ekirungi oba ekibi okugeza;

  • Bambi katonda abakulembere!
  • Mumuleke bamukube addemu empisa!
  • Muwanga abakulembere!
  • Embeera eragira

Eno y’embeera ekozesebwa kukikolwa ng’omwogezi alina gwalagira okubaako kyakola. Okugeza

  • Koza mpola tumalirize
  • Tambula onviire
  • Gamire mangu

EMPEEKERA

Bino byebigambo ebiri awamu ebisukka mukimu nga binyonnyola erinnya oba ekikolwa ekiba mu sentensi

Ebika bye mpeekera

  1. Empeekera nakongeza linnya
  2. Empeekera nakongeza kikolwa

Empeekera nakongeza linnya

Bino byebigambo ebiri awamu ebyongera okunnyonnyola erinya eriba mu sentensi okugeza;

  • Abayizi abalidde emmere babakubye
  • Abalenzi abatalina mpisa tebasobola kuwasa

Wetegereze:

  • Ebigambo ebisazidwako mu sentensi byebikoze ngempeekera nnakongeza linnya.
  • Bwoba osaza kumpeekera nakongeza linnya otandikira kukigambo ekiriraanye erinnya okutuka kuntandikwa yekikolwa ekyokubiri.
  • Enjawulo wakati wa nakongeza linnya kiba kigambo kimu ekinnyonnyola ekikolwa ekiba mumboozi era byawulwamu ebiti bitano nga byebino.
  1. Empeekera nakongeza kikolwa eyempisa

Eno eba eraga engeri ekikolwa gye kikolebwa era eba eddamu ekibuuzo tya? (how?) okugeza;

  • Nakirya atambula yenna nga yeerinyako era bane bamusekerera nnyo
  • Twamusanze atunula bigigidde ng’embuzi ekaabira amalagala ne twewunnya kyeyabadde.
  1. Empeekera nakongeza kikolwa ey’ensonga

Eno eba enyonnyola ensonge eziviirako ekikolwa ekikulu ekiri musentensi okukolebwa era eddamu ekibuuzo (lwaki?) why? Okugeza;

Babirye yanyiize lwakuba twamugyeko ebintu bye

Omusomesa waffe teyaze kussomero kubanga twaganyi okukola omulimu gweyatulekera.

  1. Empeekera nakongeza kikolwa eyekiseera

 Eno ekozesebwa okunyonnyola obudde ekikolwa ekikulu lwekyakoleddwa oba lwe kikolebwa era eddamu ekibuuzo (ddi?) when okugeza;

  • Lugemwa atuuse tunaatera okugenda okwebaka era teyasanze kyaggulo.
  • Twava kumbaga nga bamaze okugabula era bwetutyo netudda eka
  1. Empeekera nakongeza kikolwa ey’ekifo

Eno ekozesebwa okunnyonnyola ekifo ekikolwa mwekikolebwa, mwekyakolebwa oba mwekikolebwa era eba eddamu ekibuuzo (wa?) (where?) okugeza

  • Embuzi zirumye gyezisula era omuddo gwonna guweddewo
  • Amenvu gateeke waggulu kukibanyi gasobole okwengera.
  • Empeekera nakongeza kikolwa eyakakwakulizo

Eno eba enyonnyola nti waliwo ekirina okusooka okutuukirizibwa ekikolwa kiryoke kikolebwe era tokozesa obugambo nga singa ne bwe okugeza;

  • Njakuddayo ewaka bwe naaba maliriza ebibuuzo
  • Omulenzi oyo ajja kusibwa singa tava kumuwala wange

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Scroll to Top