Full luganda notes on Nnakongeza linnya (adjective)

Nnakongeza linnya (adjective)

Kino kyekigambo ekyongera okunnyonnyola ku linnya

Kino ekigambo kibeera kitulaga enkula, enfaanana, omuwendo, n’eneeyisa.

Ebika bya Nnakongeza linnya

  1. Nakongeza linnya ezempisa

Zino ziba ziraga engeri erinnya erikuweereddwa gyelyeyisaamu era nga mulimu zino -wombeefu, -gayavu, -yonjo, -sirifu, -jjagujjagu, -lalu, -kyafu nendala. Okugeza;

Omuwala oyo muwombeefu nnyo ekissuse

Ako akalenzi kagayaavu tekasobola mirimu

  1. Nakongeza linnya ezengeri/enkulu.

Zino ziba ziraga engeri erinnya gye lyakulamu era nga zezino –gezi, -wanvu, -yimpi, -nene, -gagga, -tono, -gazi. Okugeza;

  • Omuwala muwanvu naye ate kitaawe mumpi.
  • Embuzi ye nnene era ezitowa nnyo
  • Kalule mugezi nnyo
  • Olugoye lumyufu
  • Nakongeza linnya ezoomuwendo/eziraga obungi

Zino ziba ziraga omuwendo gwerinnya eriba lyegerwako era zezino ntoko, nkuyanja, nfaafa, munaganwa, kkekwa, bonsattule. Okugeza;

  • Ebijanjaalo nina nkuyanja
  • Abasomesa batono mu ssomero
  • Abalenzi bonsattule babatute ku kibuga
  1. Nakongeza linnya endazi

Zino zeeyambisibwa mu kulaga erinnya weriri era efaanagana ne nakasigirwa endazi era zezino –no, o, -li okugeza;

  • Omuwala oyo mwagala nnyo
  • Essomero lino erya St. Juliana ddungi
  • Akambe ako kampe
  • Nakongeza linnya embuuzi

Zino nazo zeeyambisibwa mu kukola ebibuuzo era nazo zifaanana ne nakasigirwa embuuzi wabula ze ziteekwa okubeera n’erinnya eryogerwako.

Ebyokulabirako  

Abalenzi bameka abatuuse wano?

Kyagera ki gw’obadde otugamba?

Entebe eriwa gy’ontumye?

  • Nakongeza linnya ezoobwannanyini

Zino zibeera ziraga obwannanyini ku linnya lye ziba zoogerako okugeza;

Akatabo kaffe kano kanyuma

Amenvu ge mavundu

Abaana be babbi nnyo

Okwegezaamu

Saza ku Nakongeza linnya eziri mu sentensi era ozituume amannya

  • Taata we mukambwe nnyo
  • Makeeka ki gwe bakutumye
  • Abawala abeeru benfiirako
  • Musiitwa ebijanjaalo alina nkuyanja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Scroll to Top