Nakasigirwa (pronouns)
Nakasigirwa kyekigambo ekisigira oba ekiyimirirawo kubwerinnya ly’omuntu oba ekintu okugeza ffe, mmwa, nze, mu, ba, ye, ku, bo.
Ebika byanakasigirwa
- Ezoobuntu
- Ezoobwananyini
- Endazi
- Embuuzi
- Entabaluganda
- Nakasigirwa eziggumira
Ezoobuntu
Zino ziyimirirawo kubw’omuntu era nga zawulwamu ebika bino wammanga.
- Nakasigirwa ezoobuntu ezeemala
Zino bweziba zikozeseddwa mumboozi zisoboka okuyimirirawo zokka nezisigala nga ziwa amakulu.
Omuntu Bumu Bungi
Asooka Nze Ffe
Owookubiri gwe mmwe
Owookusatu ye bo
Ebyokulabirako
Nze namugambye okulima
Ffe tuwaase emmere eyo
Singa teyabadde ye kutuvuma tetwandimukubye
- Nakasigirwa ez’obuntu eziteemala
Zino tezisobola kuyimirirawo zokka okuggyako nga zikozeseddwa mu mboozi/ssentensi okugeza a-, o-, ku-, mu-, n-
Ku nakasigirwa zino zawulwamu ebiti bibiri omuli
- Enkozi
Zino zibeera ziraga omuntu oba akola ekikolwa era zezino;
Omuntu Bumu Bungi
Asooka n- Tu-
Owookubiri o- Mu-
Owookusatu a- Ba-
Ebyakulabirako
Ntunda emmere
Oyagala kukolaki ssebo
Namuganga ayimba bulungi nnyo
Abaana batudde.
- Ezikolebwako
Zino ziraga omuntu abeera akolebwako ekikolwa (object) era ze zino;
Omuntu Bumu Bungi
Asooka -n- -tu-
Owookubiri -ku- -ba-
Owookusatu -mu- -ba-
Ebyokulabirako
Babakubye
Ankubye oluyi
Akuvumye nakusekerera
Yatugulira ebirabo bingi
Nakasigirwa ezobwannayini
Zino zibeera ziraga omuntu alina obuyinza ku kintu okugeza –ange, affa, o, e, abbwa, -ammwe.
Omuntu Bumu Bungi
Asooka -ange- affe
Owookubiri -o -ammwe
Owookusatu -e -abwe
Ebyokulabirako
Genda ondeetera yange yokka
Mugambe akuwe ku yiye yokka
Ago amata gaabwe
Atute ebitabo byaffe naye teyabiziza
Nakasigirwa endazi
Zino zaawulwamu emirundi esatu era nga ze zino.
- Eraga ekintu ekiri okumpi n’ayogera era eragibwa nennyingo –no okugeza.
- Bano baana bange
- Wano we wange
- Eziraga ekiri okumpi negwebalaga so ng’ate kiri wala nnyo alaga era eragibwa n’ennyingo eya –o. okugeza;
- Eyo mbwa yange
- Wabula ako akawala kalungi
- Eziraga ekiri ewala ewabombi (alaga ne gwebalaga). Eno eragibwa n’ennyingo eya –li okugeza.
- Kali akasimu kange
- Kiri ky’emutumye kijja kukola bulungi
Nakasigirwa ezibuuza/embuuzi
Zino ziwandiikibwa singa mu ssentensi mubaamu okubuuza era zezino Wa? Tya?, Ddi?, Ani?, Ki?, Lwaki?, Mmeka?
Ebyokulabirako
- Lwaki atudde wano?
- Ani akugambye?
- Bammeka abalidde emmere?
Nakasigirwa antabaluganda
Eno nakasigirwa eba eretawo oluganda oba enkolagana wakati w’erinnya n’ekikolwa. Erinya liyinza okuba nga lye likola ekikolwa okugeza kye, bye, ge, ze, be.
Nakasigirwa entabaluganda zaawulwamu emirundi esatu eranga ze zino.
- Entabaluganda enkozi
- Entabaluganda ekolebwako
- Nnakasiba
- Entabaluganda enkozi
Nakasigirwa eno egattibwa ku kikolwa na yongeera amanyi mulinnya. Era zezino a, w, e okugeza;
- Omwana atambula bulungi
- Agalenzi ogutambula gukyafu
- Ente erya omuddo buli lunuka
- Entabaluganda ekolebwako
Zino ziba zireetawo oluganda wakati werinnya erikolebwako ekikolwa n’ekikolwa kye nnyini ekikolebwa.
Ebyokulabirako
- Abaana be walabye babbi
- Omuwala gwe watumye akamyewo
- Ebitabo by’oleese babibbye
- Omusawo gw’oyise agambye ajja
- Nakasiba
Kano kekagambo akabeera kannyonyola erinnya kyeriba likola mumboozi. Kafaanagana ne nakasigirwa entabaluganda ekolebwako naye enjawulo erabikira mukwogera okugeza;
- Omulawo gwe baleese gwe gugoya akawunga
- Amagi ge bamuwadde ge gaatise
Nakasigirwa eziggumiza/enziggumizi
Zino ziba ziggumiza ekyo ekiba kyogerwako n’olwekyo ziba zongera amaanyi kulinnya eryogerwako mu mboozi.
- Yo ente nnene
- Byo byebiyulise
- Bo bebakubye empi
- Go gendeese
Wetegereze. Nakasigirwa ezoobuntu ezeemala zonna zisobola okukola ng’eziiggumizi okugeza
- Ggwe obbye essimu
- Nze mpuliriza amawulire
- Mmwe mubadde mutambula
Okwegezaamu
Saza kuzinakasigirwa eziri mu sentensi zino era ozituume amannya gaazo.
Kino ekitabo kiyulika mangu
Mumugambe aleete bitono
Ente gyebaatemye enaatera okufa Owange namukyawa lwabunyoomi
