ENKOZESA Y’OBUBONERO MU LUGANDA (PUNCTUATION MARKS)
Mu luganda tulina obubonero bungi ate obwenjawulo bwetweyambisa nga tuwandiika ssentensi wamu n’emboozi okusobola okugifuula ennyuvu n’ekuwa amakulu. Buno bwena obubonero bw’oluganda.
- Akatonnyeze/akafundikira (full stop)
Akabonero kano kakozesebwa bwekati;
- Mukumaliriza ssentensi okugeza; Omusomesa mulwadde.
- Nga tisirisa ebigambo okugeza Owek. Mw. U.N.E.B
- Kakozesebwa nga twawula emiwendo n’ennaku z’omwezi okugeza 14.6.2017.
- Nga tuwandiika emboozi ebeera erina ebigambo ebibuukiddwa okugeza; Nakamanya yagamba nti tayagala kumweraga era oluvannyuma nabavuma.
- Akabuuzi (?) (Question mark)
Kano kakozesebwa singa emboozi eba yetaaga ekyokuddamu oba ngerimu obugambo obubuuza okugeza;
- Mugenda ddi ku luzzi?
- Babadde ki abo abatuleekanira?
- Omwana azanyira munkuba talwale?
- Obuwaabi (“ ‘’) (Quotation marks)
Buno tubukozesa singa tuba tulaga;
- Ebigambo ebisimbulize okugeza bayibbuli egamba nti “Kitaawo ne nnyoko obasangamu ekitiibwa.
- Singa tuba tukozesa ekigambo ekitali kyalulimi lwaffe okugeza; Omutanda yawayizaamu ne “president” weggwanga kunkola ya “fedral”
- Singa wabeerawo ekyokusaako essira okugeza; “okusoma” kutuusiza bangi kubirungi.
- Okulaga ebigambo ebyayogerwa/ebyawandiikibwa omuntu omulala okugeza; Omukulu wesomero agambye nti “abayizi bonna abatanasasula bisale bakudizibwayo ewaka”.
- Akasaze (-) (Dash)
- Kakozesebwa okugatta ebigambo okugeza nnyonyintono, mbuzi-ekogga.
- Keyambisibwa mukwawulamu ekigambo ekiba kikutuddwamu kunkomerero yolunyiriri.
- Kakozesebwa okuwandiika ennaku z’omwezi okugeza 6-8-2018.
- Kayinza okulaga okutuusa okugeza; Soma olupapula lwa Bukedde okuva ku muko ogwo 8-9.
- Akamenyi (;)
Kano kakozesebwa okugatta ssentensi kyoka ng’ate zisobola okuyimirirawo zokka neziwa amakulu okugeza; abayizi abasoma ennyo bayita; abalagajjavu tebasoma bulungi.
- Obukomera ( ) (brackets)
Buno bukozesebwa okulaga nti ebigambo ebiteereddwa mubukomera biwa amakulu gegamu nebyo ebidiridde. Okugeza; Maama wa Buganda (Nnaabagereka).
- Akasittale (/) (stroke)
- Keeyambisibwa mukuwandiika ennaku z’omwezi wamu ne miwendo emirala okugeza 6/4/2018.
- Keeyambisibwa mu kifo kyekigambo okugeza; omuwala/omulenzi gwetwetaaga.
- Akawummuza (,) (comma)
- Keeyambisibwa mukwawula ebintu ebimenyeddwa. Okugeza Tulina amatooke, lumunde, kasooli, fene wamu ne balugu.
- Mukusala mu ssentensi empanvu okugeza; Mwami kyambadde, gwewalabako kululi, akutumidde nnyo.
- Akeewunyi (!) (exclamation mark)
Kano kakozesebwa musentensi erimu okwewuunya, okusaasira, okunnakuwala, okwemulugunya oba okwekubagiza okugesa;
- Magala nga yalaba okufiirwa!
- Bambi ng’olabye!
- Nnyabo, nnyabo, nnyabo wulira ebyo ate!
- Akanjuzi: (colon)
Kakozesebwa nga waliwo ebintu ebigenda okwanjulibwa okugeza. Emmere ey’omuttaka tulina nga: lumonde, muwogo, balugu, endaggu, nandigoya nendala.
- Akassukkize apostrophy (‘)
- Kakozesebwa okugatta nakataba oba entababigambo kukikolwa okugeza;
- N’agamba so si ne agamba
- Ng’ayogera so si nga ayogera
- N’akaaba so si ne akaaba
- Kakozesebwa okugatta nakasigirwa entabaluganda ekolebwako kukikolwa okugeza;
- Omwana gw’olabye so si omwana gwe olabye
- Ekikopo ky’agamba so si ekikopo kye agamba
- Kakozesebwa okugatta nnakasiba kukikolwa okugeza;
- Ensuwa z’atambuza zaatise
- Amata g’ayiye munva.
- Kakozesebwa okugatta nakasigirwa eyobwanannyini kulinnya okugeza;
- Omukyala w’omwami
- Abaana b’eMityana
Wetegereze
Tetuteeka kassukkize ku mannya gankalakalira okugeza;
Amiini ne Obote so si Amiini n’obote
Owoomuluka so si Ow’omuluka Owessaza so si Ow’essaza
