EMBU ZEBIGAMBO (PARTS OF SPEECH)
- Amannya (nouns)
- Nakongeza linnya (adjectives)
- Nakasigirwa (pronouns)
- Ebikolwa (verbs)
- Nakongeza kikolwa (adverbs)
- Nakalazi/ssenfo (prepositions)
- Nakayunzi/entababigambo (conjunction)
Amannya/Erinnya
Erinnya kyekigambo omuntu oba ekintu okukyawula ki kirala (omulala) amannya gano gawulwamu ebika ebyenjawulo.
Ebika by’amannya
- Agenkalakalira (proper nouns)
- Agoolukale (common nouns)
- Agebibinja (collective nouns)
- Agebitakwatwako (abstract nouns)
Amannya agenkalakkalira
Gano ge mannya agatumibwa abantu/ekintu ngategakyukakyuka mu gano tulinamu.
- Agabantu okugeza Nambirige, Nanfuka, Nakiranda
- Agebyalo okugeza; Gayaaza, Kasangati, Namboole.
- Agebibuga okugeza; Kampala, Mityana, Masaka.
- Agensi okugeza Uganda, Kenya, Tanzania, Somalia
- Agebibira okugeza; Mabira, malamagambo.
- Agensozi okugeza; Rwenzori, Mufumbiro, Kadam.
- Agenyanja n’emigga okugeza; Nalubale, Kiyira, Mayanja, Kyoga
Wetegereze. Amannya gano bwetuba tugawandiika tugatansisa na nnukuta nnene okugeza;
Kalule ne Kiyengo baagenda ku lusozi Rwenzori.
Amannya agolukale (common nouns)
Gano g’emannya agatuumibwa omuntu oba ebintu ebigwa muttuluba lyerimu naye nga tegaggyayo linnya lyamunda ly’ankalakkalira okugeza abayizi abasawo, abasomesa, amasomero, abalenzi, abayimbi, abasajja.
Agebibinja (collective nouns)
Gano g’emannya agatuumibwa ebintu ebingi ebifaanaga nga biteereddwa wamu okugeza;
Ebintu erinnya
Jjambula Kirimba
Ente Eggana
Enku Olusekese
Embuzi Oluseregende
Omusenyu Entuumu
Enswa Omutwalo
Abantu Ekibiina
Essubi Ekinywa
Amalaalo Olubungu
Amannya agebitakwatwako Gano gatuumibwa ebintu ebitasobola kukwatibwako okugeza; Essanyu, ettima, obugunjufu, emputtu, omukwano, empisa, enjala, otulo, enseko, ekisa, akalaakya, ebbugumu
