EMBU Z’AMANNYA (NOUN CLASSES)
Olubu ly’ettuluba amannya agenjawulo mwegada mu luganda embu z’amannya ziri 23 era ze zino
1MU
Muno mugendamu amannya gabantu agenkalakkalira okugeza Nabasumba, Namitara, Katumba, Musoke.
Mugendamu n’amannya g’ensolo nga zufuuliddwa abantu okugeza wampologoma, wanfuddu, wante.
Mulimu n’amannya amalala okugeza ssabbuuni, kaama, kkamulali namalala.
Amannya gano galagibwa ne nakasigirwa endazi eya ono, oli, oyo.
2BA
Muno mulimu amannya agali mu 1MU naye nga galimubungi okugeza bannamitala, bawampologoma, bamusoke.
Nakasigirwa endazi eri bali, abo, bano
3MU
Muno mugenderamu agebimera okugeza muyembe, mucungwa, muwogo.
Agebisolo okugeza musege, musota, munnya.
Agendwadde okugeza mutwe, musujja
Nakasigirwa endazi eri guno, guli, ogwo
4MI
Muno mugenderamu amannya gonna getulabye mu 3MU naye nga gali mubungi. Okugeza micungwa, miguwa, misoto, misujja.
Nakasigirwa endazi eri gino, giri, egyo
5LI
Muno mugendamu amannya agatandika n’ennyingo li okugeza; linnyo, lyato, linnya, liggwa, liiso.
Mugendamu amannya agaba galaga obunnene bw’ekintu okugeza linene, lisota, liwala.
Mugendamu amannya amalala nga bbaala, jjuuni, ttama, ttaka.
Nakasigirwa endazi lino, liri, eryo
6MA
Muno mugendamu amannya agali mu 5LI naye nga gali mubungi okugeza amaaso, amannyo, amaato, amaggwa.
Mugendamu n’amannya amalala ngobumu bwago tebuli mu 5li naye nga gatandisa ennyingo eya “ma” okugeza magulu, matu, maaso.
Nakasigirwa endazi eri gano, gali, ago
7KI
Muno mugendamu amannya agatandika n’ennyingo ki okugeza; ekiti, ekikopo, kitabo, ekiigiko.
Megenderamu namannya agagezaako okuvumaganya ekintu okugeza kikazi, kiwale, kisikaati.
Nakasigirwa endazi eri kino, ekyo, ebyo
8BI
Olubu luno lugendamu amannya agali mu 7KI nga gali mubungi okugeza bitabo, bikopo, bigiiko
Nakasigirwa endazi eri bino, biri, bino.
9N
Muno mugendamu amannya agatandika ne nakinyindwa naye ng’egatidwako ensirifu okugeza mp, ns, mb, nt, ng, nf, nk okugeza enkumbi, ensimbi, ente
Nakasigirwa endazi eri eno, eyo, eri
10N
Muno mugendamu amannya agali mu 9N naye nga gali mubungi okugeza enkoko, ente, ekikolo tekikyuka wabula Nakasigirwa endazi yekyuka.
Nakasigirwa endazi eri eno, eyo, eri
11LU
Muno mugendamu amannya agatandisa n’ennyingo “lu” okugeza luku, luzzi, lusuku, lugoye, lupapala.
Nakasigirwa endazi eri luno, luli, olwo.
12KA
Mugendamu amannya agatandika n’ennyingo eya “Ka” okugeza Katale, Kawunga, Kambe, Katungulu.
Mugendamu n’amannya agalaga obutono bwekintu okugeza kasajja, kawala, katabo, katebe.
Nakasigirwa endazi eri kano, ako, kali
13TU
Muno mugendamu amannya agatandisa ennyingo eya tu okugeza otulo, mugendamu amannya agalaga obutono bwekintu okugeza tukazi, tusajja, tusukkaali.
Nakasigirwa endazi eri tuno, otwo, tuli
14BU
Mugendamu amannya agali mu 12ka ne 13tu nga gali mubungi okugeza butale, butungulu, buwunga
Nakasigirwa endazi eri buno, buli, obwo
15KU
Muno mugendamu amannya agatandika n’ennyingo “ku” okugeza kutu, kugulu.
Nakasigirwa endazi ziri kuno, kuli, okwo
16WA
Muno mugendamu amannya agatandisa n’ennyingo “wa” nga galaga bifo okugeza wansi, waggulu, wamberi.
17KU
Mugendamu amannya agatandisa n’ennyingo “Ku” nga galaga bifo okugeza kungulu, kummeeza.
Nakasigirwa endazi ziri kuno, kuli, kuno
18MU
Mugendamu amannya agatandisea n’ennyingo “mu” naye nga galaga ebifo okugeza mukisero, mukikebe, mummotoka.
Nakasigirwa endazi ziri muno, muli, omwo
19 –
20GU
Mugendamu amannya agatandisa n’ennyingo “Gu” naye nga galaga obunene bw’ekintu ate oluusi n’egabanga agavuma okugeza gukazi, gumotoka, gukopo, guyumba.
Nakasigirwa endazi ziri guno, guli, ogwo
22GA
Mugendamu amannya agali mu 20GU nga gali mu bungi okugeza gakazi, gamotoka, gakopo, gayumba.
Nakasigirwa endazi eri gano, gali, ago
23E
Mulubu luno mugendamu amannya agatandise ennyingo eya “e” naye nga galaga bifo okugeza ewaffe, emmanga, ebbali.
Nakasigirwa endazi ziri eno, eri, eyo
Ebyetaago by’lubu
- Empeerezi esooka
- Ennyingo yerinnya
- Nakasigirwa endazi
- Nakasigirwa eyessira
- Ennyingo y’olubu
