EBIKULU EBIGOBERERWA MU KUFUNZA EMBOOZI

OKUFUNZA

Kuno kwekuddamu okuwandiika ekibeera mu bigambo ebingi olwo nekidda mu bigambo ebitono ddala naye nga amakulu n’obubaka tebikyusiddwa.

EBIKULU EBIGOBERERWA

  • Soma endagiriro era ogigoberere bulungi.
  • Soma ekitundu okitegeere bulungi.
  • Ekitundu ddamu okisome omulundi omulala.
  • Wandiika ekiwandiiko ekisooka nga okozesa ensonga zojje mu buli kiba (paragraph).
  • Soma mu kiwandiiko ekisooka okigerageranye n’ekyakuwereddwa.
  • Wandiika ekiwandiiko ekyokubiri.
  • Ekiwandiiko ekisooka tokisazaamu nga tonamaliriza kyakubiri.
  • Fuba okugondera omuwendo gwebigambo ebisabiddwa.
  • Ebigambo ebyogere obuterevu biteeke mu kyewaabya.
  • Laga bulungi ennamba yebibuuzo gyoddamu.
  • Kozesa bibiri byakusatu ebyolupapula mu kiba kimu.

Wewale bino

  • Okukyusa ekiseera kyekiwandiiko.
  • Okuddiηana ebigambo.
  • Okukozesa ebisoko n’engero.
  • Okusaako omutwe nga tebagukusabye.
  • Okukoppolola obukoppolozi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Scroll to Top