EBIGAMBO EBIGATTIBWA N’EBIGAMBO EBITAGATTIBWA LUGANDA NOTES

EBIGAMBO EBIGATTIBWA

Muluganda mulimu ebigambo ebigattibwa kubinaabyo newankubadde nga mungeri biri bibiri era nga byandibadde byawulwamu mu mpadiika. Muluganda tugatta ebigambo mengeri zino wammanga.

  1. Ngatuwandiika amannya agava mungero okugeza Basajjassubi, Nnyonyintono, Kiriggwajjo.
  2. Amannya g’ennaku za wiiki okugeza; olw’okuna, olw’omukaaga.
  3. Ngatuwandiika ebikolwa ebiddiddwamu okugeza; temaatema, Salaasala, buukabuuka.
  4. Amannya agalaga oluganda okugeza; Kitaffe, Ssengagge, bannyaffe.
  5. Obugambo buno, nga, ku, mu, yo, ne wo bwebuba busembye kukikolwa tubugattako okugeza;

Tuulako wansi

Nnyimbiraamu akayimba

Twayimbanga babiri

  • Amannya ag’ebyobufuzi nago gegattibwa tegawulwamu okugeza oweggombolola, oweessaza, oweessiga, owoolunyiriri.
  • Amannya agava mubikolwa okugeza ebyokunywa, ebyobulunzi.

EBIGAMBO EBITAGATTIBWA

  1. Ssenfo ziwandiikibwa zokka mu  bbanga okugeza;
  2. Genda mu kinaabiro
  3. Tuula ku mmeeza
  4. Twagendayo ku olwo
  5. Wano e Buganda tulima amatooke
  6. Obugambo obubuuza; lwaki, ani, ki, ddi okugeza;
  7. Lwaki oneesibako?
  8. Ani akubye omwana?
  9. Bantu ki abavumye omusawo?
  10. Obugambo obuyunzi okugeza; nga, ne, ate, so era nabwo buwandiikibwa bwokka mubbanga singa ekigambo ekibuddiridde kiba tekitandika nampeerezi okugeza;
  11. Musisi ne Nalule basoma ekitabo.
  12. Ssali akaaba nga bwadduka
  13. Obugambo obulaga obwannanyini okugeza; za, lye, bye
  14. Embuzi za maama zikutudde
  15. Ettooke lye lyengedde
  16. Ebitabo bye babibbye
  17. Akagambo akagaana aka “si” bwekaddirirwa ekigambo ekirala nga   si kikolwa kawandiikibwa mu bbanga okugeza; Nalweyiso si mulungi mulwadde.

OBUGAMBO OBUGAANA

Muluganda obugambo obugaana bulimu busatu era bwebuno si, te, obuta.

ENKOZESA YA SI

  • Tukozesa akagambo si nga tugaana mu muntu asooka okugeza; simukubye, sigenda, siwemuka.
  • Kafuuka sa mukiseera ekyayita oba ekyayise okugeza;

Saagala baana banempankirako

Saagenze (ekyayise)

Saamulabye

  • Twongerako “I” singa tuba tugaana mukiseera ekijja olwo kukikolwa netusembyayo “E”

Siibireete, siiweemuke, siirime

  • Mukiseera ekirija emboozi efaanana bweti sirimutwala, siriwemuka, sirimwebaza.

Wetegereze

  • Si tegattibwa kukigambo singa eba eddiriddwa nakingeza linnya okugeza; Nakiganda si muwanvu.
  • Tegattibwa kukigambo kirala kyonna singa eba eddiridde erinnya okugeza; Kayobyo si Kataayi.

ENKOZESA YA “TE”

  1. Akagambo kano keyambisibwa mu bantu abalalabonna abasigaddewo okuggyako asooka mubumu nga bwetwalabye waggulu. Okugeza;
  2. Tetumulabye
  3. Temumwemalizannyo
  4. Tebawandiika bulungi
  5. Kafuuka “to” mu muntu owookubiri okugeza;
  6. Tojja kufuka wano nga tukulaba.
  7. Tomutwala ajja kulwalirayo
  8. Tonaaba
  9. Bwetuba tugaana mu muntu ow’okusatu kafuuka “ta” okugeza
  10. Tayagala muntu amunyizaako
  11. Tajja kufuka wansi wa muti ogwo -
  12. Kitaffe talina nsimbi

ENKOZESA YA BUTA

Kano kasigga kakozesebwa nga tugaana naddala kubikolwa ebitaliiko kkomo naddala ebitandika ne “ku” oba “oku” okugeza;

  • Okusoma      -        obutasoma
  • Okufa           -        obutafa

Okulima        -        obutalima

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Scroll to Top